Bya Ssemakula John
Bulange
Minisita w’Obwakabaka owa gavumenti ez’ebitundu era Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Christopher Bwanika, asabye abeesimbyewo ku bifo ebyenjawulo okwewala ebyobufuzi ebisiga obukyayi era bagondere amateeka.

Owek. Bwanika okusaba kuno yakukoze ku Lwakubiri mu bimuli bya Bulange bwe yabadde atikkula oluwalo okuva mu masaza okuli; Kyaddondo, Kyaggwe, Busiro ne Bulemeezi, ku mukolo kwe yabadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga.
“Tufube nnyo okwewala ebitutwala mu butakkaanya naye Obutakkaanya obwo nga bubaddewo tufube okubugonjoola mu nkola ey’obuntubulamu so si mu kukozesa lyanyi. Twewale okutwalira amateeka mu ngalo kuba si nkola ya bugunjufu era si nkola ya Buganda.” Owek. Bwanika bwe yategeezezza.
Owek. Bwanika yagumizza abantu ba Ssaabasajja Kabaka nga kaweefube w’Obwakabaka okufuna eddwaliro bw’atambula obukwakku era nga kabbineeti yamala dda okugiyisa.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki yasinzidde ku mukolo guno, n’asaba abazadde okwagazisa abaana emirimu gye bakola kibataase okugenda ku mawanga okubonaabona nga banoonya emirimu.
Ate ye Katikkiro w’Ebyalo bya Ssaabasajja Kabaka, Omuk. Moses Luutu, yaloopedde Obuganda ensonga y’abaana okubanga tebakyaleetebwa ku mikolo, nga kino kisobola okusaanyaawo ezimu ku nkola ez’ebyobuwangwa.
Abaami ba Ssaabasajja abaakiise e Mbuga baawozezza olutabaalo lwabwe ku ntambuza y’emirimu gy’Obwakabaka ne balaga n’ebyo ebisinga okubasoomooza mu bitundu byabwe.
Eggombolola ya Mutuba IV Kawuga okuva e Kyaggwe, ye yalidde empanga ate abaasinze okuleeta Amakula baabadde ba ggombolola Ssaabawaali Bukyama okuva mu ssaza ly’e Bulemeezi.
Obukadde obusoba mu 15 bwe bwaleeteddwa okuva mu masaza gano, ssaako Amantambutambu n’Amakula ga Katikkiro ne Beene.









