Bya Ssemakula John
Kampala
Bbanka ya dfcu ereese kaweefube w’okuyamba abasuubuzi ng’ebawola ssente awatali musingo gusabibwa kisobozese aba bbizineesi entonotono n’ennene okuddamu okutambula obulungi.
Enteekateeka eno etuumiddwa “Baraka Loans” egenda kuyamba abasuubuzi okwewola awatali musingo gwa ttaka oba ekintu kyonna ng’akwakkulizo bwe kabadde eri yenna ayagala okwewola.
Mu ‘Baraka Loan’ omuntu asobolera ddala okwewola okuva ku bukadde bubiri okutuuka ku bukadde 30 (30M) era nga zino zaakusasulwa wakati w’omwaka ogumu n’omwaka omulamba, ku magoba ga bitundu 2.5% (ku buli 100) buli mwezi.
“Tukimanyi nti aba bbizineesi entono naddala banneekolera gyange bafunye okusoomoozebwa mu kwewola ate ng’ebyenfuna by’eggwanga kwe biyimiridde,” Omukugu wa dfcu, Ronald Kasasa, bwe yategeezezza.
Kasasa yannyonnyodde nti mu nkola ya Baraka, omuntu ajja kuba asobola okwewola ssente mu ssaawa 48 zokka era nga basuubira nti kino kyakuyamba nnyo okuyimusa ebyenfuna ebibadde bigootaanyiziddwa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Kaweefube ono owa Baraka agenda kubeera mukulu nnyo eri bannamakolero amatonotono ageetaaga ssente okugula ebyuma ebikozesebwa, okwongera okuzimba wamu n’okugula emmotoka.