Bya Bashir Kyazze
Kampala
Ekitongole kya Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, ekimanyiddwa nga Nnabagereka Development Foundation, kibangudde abavubuka ku ngeri gye basobola okunywezaamu obuntubulamu wamu n’okukuuma emirembe, ng’omusomo guyindidde ku Protea Hotel mu Kampala, leero ku Lwomukaaga.

Omusomo guno gutambulidde wansi w’omulamwa ‘Omuvubuka omuntumulamu ly’essuubi lya Uganda etebenkedde’ era ng’abakugu ab’enjawulo okuli; Dr. Jimmy Spire Ssentongo, Nuwagaba K Muhsin Kaduyu, Owek. Jeff Ssebuyira Mukasa awamu ne Afande Anatoli Muleeterwa ng’ono akiikiridde Afande Asan Kasingye.
Dr. Spire Ssentongo agambye nti okuviira ddala emabega beenyigiranga mu kuleetawo emirembe nga beetaba mu by’obufuzi n’okukozesa ebitone ng’okuyimba okulwanyisa enfuga embi n’okuleetawo obutebenkevu.
“Eby obufuzi bwe bitatereera bisobola okutabangula eggwanga wabula si buli omu nti alina kuyingira byabufuzi okubaako ky’akola,” Ssentongo bw’agambye.
Yennyamidde olw’abayimbi ababadde bayimba ennyimba z’omukwano okuvaayo nebayingira ebyobufuzi nga baalemererwa okukozesa ebitone byabwe okwongera ku butali bwenkanya ate ng’abantu abasobola okubawuliriza baaliyo.
Ono abawadde ekyokulabirako kya bannabyabufuzi nga Steve Biko, Nelson Mandela, abaakozesa obuvubuka bwabwe okuleetawo obwenkanya era nga n’abakulembeze abaanunula Uganda nabo olutabaalo baalutandika bavubuka.
Dr. Ssentongo abasabye buli omu okutandikira w’ali ne ky’alina okuleetawo enjawulo.
Ate ye Afande Anatoli Muleeteerwa asabye abavubuka okwenyigira mu kuteekawo emirembe kubanga nemu byafaayo poliisi yatandikibwa bavubuka.
Wabula ono asanze akaseera akazibu okumatiza abavubuka nti poliisi y’abantu bwebamutadde ku nninga annyonnyole lwaki bakwatibwa obwereere era nga n’omuwendo gwabwe oguli mu makomera gweraliikiriza.
Nuwagaba Muhsin Kaduyu akalaatidde ebitongole ebyenjawulo okukomya okulinda akalulu okutandika okwogera n’okuteesa kubanga emirembe gyetaagibwa buli kadde.
Asabye abavubuka okukomya okwagala ebyamangu, obusungu n’okulowooza nti amaanyi ge galina okukulembera buli kimu naye beemanyize enkola y’okwogerezeganya n’okuwuliriziganya.
Ssentebe wa boodi ya Nnaabagereka Foundation, Owek. Ssebuyira, agambye nti essira tebalitadde ku kukuuma mirembe mu kaseera kano ak’okulonda naye baagala emirembe gibukale ne mu maka eggwanga lisobole okukula.
Abasabye beenyigiremu butereevu okuleetawo emirembe bave mu kulinda abalala.

Bbo abavubuka basuubizza okuteeka mu nkola byebayize okusobola okuteekawo embeera y’obutebenkevu mu ggwanga.









