Bya Jesse Lwanga
Mukono
Wabaddewo akasattiro mu kibuga Mukono, omujaasi w’eggye lya UPDF, Pvt. Robert Chemutal bw’akwatiddwa ng’akukuta n’emmundu gy’abadde akwese mu kapeti.
Chemutai ow’emyaka 26, egy’obujaasi agikolera mu bbalakisi ye Luhegyere mu Disitulikiti ye Mbarara era ng’ebirala byasangiddwa nabyo kuliko; Magazine 4 n’ekyambe.
Bino byonna byabadde mu kibuga Mukono okuliraana Ssemaduuka wa City Shoppers.
Okusinziira ku batuuze abeerabiddeko, bategeezezza nti Chemutai abadde ku boodabooda ng’adda waabwe e Kapchwora wabula nga’abadde apapa era n’atomera owa booda Henry Nkate era nebakkaanya amuwe emitwalo 7 asobole okujjanjabwa.
Abatuuze bategeezezza nti wakati nga ono asimbula emmundu gy’abadde asibye mu Kapeti emabega ku ppikipiki evuddeko n’eggwa era wano abatuuze nga bayambibwako abasirikale abakuuma Ssemaduuka be bayambye okutaayiza omujaasi ono.
Bano bayise omumyuka wa DISO w’ekitundu kino, Geofrey Omukisa azze mu bwangu n’amukwata nga ali wamu naba LDU nga bakuliddwamu Afande Ampaire era n’atwalibwa mu nkambi yaabwe Ku community center.
Abatuuze bannyonnyodde nti Omujaasi ono abadde apapa era nga bw’akoze akabenje abadde agezaako okudduka naye emmundu n’esowokamu era ng’abadde tategedde nti egudde.
Omubaka wa Pulezidenti mu kitundu kino, Fred Bamwine, akakasizza okukwatibwa kw’omujaasi ono, n’ategeeza nti abadde talina bbaluwa emusindika mu luwummula wadde emukkiriza okutambula n’emmundu eno.
Asiimye abatuuze olw’obutatwalira mateeka mu ngalo era n’abasaba okunyweza enkola eno.