Bya Muwuluzi Yusuf
Masaka
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly’e Buddu, Ppookino Jude Muleke, omulimu gw’okudaabiriza ennyumba y’omwami w’essaza entongole emanyiddwa nga Buddukiro agukutte namaanyi.
Ppookino Muleke ategeezezza omukutu guno ogwa Gambuuze nti, ye n’olukiiko lw’akulembera baasalawo okutandikira ku kuddaabiriza ennyumba kino wamu n’okuteekateeka essaza lituukane bulungi n’ekitiibwa kya Buddu ng’Essaza.
Ono agambye nti omutendera ogusooka gunaatera okuggwa kuba bamaze okwoza amatengula n’okugazzaako nga kati bali mu kukubayo ngalama era nga nayo enaatera okumalirizibwa.
“Tuteeseteese okutandika ku mutendera ogwokubiri ogw’okuddaabiriza munda wa Buddukiro nga tugenda kuguggulawo n’ekijjulo mawuuno nga 30.10.2020 wabula nga tusoose kuyita bannabyabufuzi abagenda okwesimbawo mu Ssaza Buddu nga tugenderera okubalaga we tutuuse ku mulimo guno.” Ppookino bw’ategeezezza.
Wano w’asinzidde n’asaba Bannabuddu wamu n’abantu bonna abaagaliza Buddu ebirungi, okwongera okuwaayo kibayambe okumaliriza omulimu guno.
Kinajjukirwa nti, Ppookino n’olukiiko lwe bafuna ekirowoozo ky’okuddaabiriza ennyumba eno nga 14/4/2020 era ng’omulimu gwakulirwamu Omubaka Mary Babirye Kabanda, nga gwakumalawo obukadde 275,208,000 nga gwakuggwa mu myezi 6.
Abamu ku baasonda mwe muli ekitongole kya Buganda Land Board, Omw. Zirimenya Joseph, abaganda abawangaalira ebweru awamu n’abantu abalala.
Ppookino Muleke asiimye abamyuka be; Rosemary Nalubowa, Polineto Yiga ne Muwalimu Kato, olukiiko oluzimbi olwa Buganda Mumuli olukulirwa Elayisha Muwonge wamu n’abantu abalala abaliko kye bawaddeyo ku mulimu guno.
Yeebazizza eyali Ppookino Vincent Mayiga olwokukola ennyo okununula ebizimbe bino wamu n’emirimu emirala gye yakolera essaza lino.
Ennyumba eno, Buddukiro y’ennyumba enkulu mu ssaza Buddu nga Kabaka bw’aba azze mu ssaza lino mwemuli ekisenge mw’asisinkanira omwami ow’esazza era kuliko oludda Kabaka mw’asula ate oludda olulala Ppookino mw’asula era nga yazimbibwa mu 1948.