Bya Gerald Mulindwa
Mmengo
Minisita w’obuwangwa, ennono, olulimi n’ebifo eby’enkizo mu Bwakabaka bwa Buganda, David Kyewalabye Male, asabye basenga ne bakojja okuyambako okuzzaawo ekitiibwa ky’amaka nga bayamba okulwanyisa obutabanguko mu maka.
Bino Owek. Kyewalabye abitegeezezza basenga ne bakojja ng’aggalawo omusomo gwabwe ku kuziyiza obutabanguko mu maka oguyindidde e Bulange Mmengo mu Kampala ku Lwokuna.
“Buvunaanyizibwa bwaffe ng’abaganda okukomyawo ekitiibwa ky’amaka, ensonga zino ne bwe baabeeranga basibirira omwana omuwala, bamuyitirangamu engeri gy’ayinza okuyita mu bizibu bino, baamugambanga nti bwe kiba kikuyitiriddeko batika amazzi mu matama,” Owek. Kyewalabye bw’asabye.
Minisita Kyewalabye agambye nti kibeera kya ttendo bakojja ne bassenga abasibuka mu Bwakabaka bwa Buganda bwe bakomawo nebalambikibwa kubanga bwe batakola mulimu gwabwe, wabaawo abavaayo okugubakolera.
Owek. Kyewalabye annyonnyodde nti, kino kijja kuyamba okuzza amaka ku musingi Buganda kwe yagateekerateekera. Annyonnyodde nti buvunaanyizibwa bwa baganda okuddayo mu nnono n’obuwangwa ensonga nga zino ne ziweebwa abantu abatuufu.
Agambye nti kya ttendo mu kukwasaganya ensonga zino bwe bayambibwako abakugu ne balambika ensonga ez’ekikugu ne bazikwasaganya n’obuwangwa okusobola okuzitambuliza awamu mu kifo ky’abamu okuzivumirira nga baziyita eza sitaani.
Ono ategeezezza nti mu butonde omuganda alina ensonga z’amalira mu ddiiro, mu kisenge ne mu luggya era nga kino kibayamba bulijjo okukuuma ekitiibwa ky’amaka.
Kyewalabye agambye nti abaana bangi bafiiriddwa omukisa gw’okusoma ng’entabwe eva ku butabanguko mu maka, ono alaze ng’abafumbo bwe batuuse n’okweweebula nebakunamira ensi n’okusaanyaawo ekitiibwa kyabwe olw’ensonga nti obutabanguko mu maka bubanaazaako ensonyi.
Asabye abazadde naddala abasajja okufaayo okukola batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe era bakole kiyambeko okwegobako obwavu kuba buno bwebusinga okuvaako obutabanguko mu maka.
Owek. Kyewalabye asiimye Minisitule y’Ekikula ky’abantu mu Bwakabaka n’ekitongole ky’amawanga amagatte ekya UNFPA, olw’okutegeka omusomo guno.
Abasomesa ab’enjawulo okuli; Dr. Phionah Kalinda, muky. Fatuma Nakazzi, Ssali Damascus n’abalala, basabye buli omu akole ky’asobola okumalawo ekizibu kino.