Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, alaze obutali bumativu ku kyekubiira w’ekitongole by’ebyokwerinda ebisusse okuyigganya ekibiina kye.
Kino kiddiridde amagye ne poliisi okusalako ekitebe ky’ekibiina nebatandika okufuuza buli kasenge ne woofiisi leero ku Lwokusatu.
Abakuumaddembe ababadde babagalidde emigemerawala awamu n’obukebe bwa ttiyaggaasi bazibye enguudo zonna ezituuka ku kitebe kino era nebamenya enzigi eziyingira mu woofiisi zino.
Okufuuza ekifo kyonna kumalidde ddala essaawa ennungi bbiri.
Ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya akakasizza nga poliisi bw’ekuuliise n’obukoofiira bwabwe obumyufu, ebipande n’ebintu ebirala bye babadde bagenda okukozesa mu kalulu n’ebiwandiiko byabwe.
Rubongoya annyonnyodde nti bano tebabadde nakiragiro kya kkooti era ng’okuyingira munda mu woofiisi zaabwe enzigi bamenyemenye.
Omwogezi wa poliisi Fred Ennanga akakasizza okuzingako ekitebe kino n’alaga nti babadde banonyeyo bukoofiira obumyufu era n’ebyambalo ebifaanana eby’amagye ebibadde ku kitebe kino.
“Tunoonya ebifo byonna ebifulumya n’okusaasaanya awamu n’okutunda ebyambalo wamu n’ebintu ebyenjawulo ebifaanana ebyamagye kubanga ge gokka agalina olukkusa okubeera n’ebintu bino.” Onyango bw’agambye.
Ku nsonga eno, Bobi Wine annyonnyodde nti abawagizi be abawerako poliisi ebataddeko ebisago n’akiikira ebitongole by’ebyokwerinda ensigo olw’okubeera nekyekubiira.
Ate ye akulira ekibiina kya Alliance for National Transformation (ANT), Gen. Mugisha Muntu, alaze ng’ekikolwa kino bwekiri ekibi naye n’ategeeza nti kibadde tekyewuunyisa.
Muntu asabye ab’ebyokwerinda okusigalamu ak’obuntu era bakimanye nti buli kye bakola bakikola ku lwa Bannayuganda, si nsonga ani atudde mu woofiisi n’abalabula nti ababawaga akedde konna obuyinza busobola okubava mu ngalo