Bya Gerald Mulindwa
Bulange- Mmengo
Mukuumaddamula w’Obwakabaka, Owek. Charles Peter Mayiga, asabye abantu okukomya okweraliikirira ku muwendo gw’abaana be bazaala naye bafeeyo nnyo ku kye bayingiza mu nsawo.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti ebbula bikolwa kye kimu ku bizibu ebisinga okuvaako obwavu n’abantu okuzaala abaana abayitiridde be batasobola kulabirira.
“Omuntu alina ebyokola, tamala gazaala kubanga talina budde,” Owek. Mayiga bw’agambye.
Amagezi gano Owek. Mayiga agawadde asisinkanye ekitongole kya Population Media Center mu Bulange Mmengo, ababadde bakulembeddwamu Ssenkulu w’ekitongole kino Mw. Patrick Lubowa Bwanika.
Owek. Mayiga awadde eky’okulabirako ky’abakyala abakola mu butale wamu n’abasuubula e Dubai bagamba, nti bazaala abaana batono kubanga tebalina budde bugenda kubalabirira.
Mayiga awadde abaluubirira okutumbula embeera z’abantu okukyusa ekkubo lye bakutte okuyamba abantu kubanga ekizibu kiri ku bbula bikolwa nabyanfuna.
Ono agambye nti Obwakabaka bumalirivu okukolagana nabo okulaba nga batumbula embeera z’abantu mu Buganda ne Uganda.
Ssenkulu Bwanika annyonnyodde Katikkiro Mayiga nti omulamwa gw’ekitongole kino kusitula mbeera za bulamu bw’abantu era nga bakikola bayita mu kusomesa abantu ku kye balina okukola era nga bali mu mawanga agawera 50 (attaano).
Bwanika asiimye emirimu gy’Obwakabaka mu kusitula embeera z’abantu naddala mu kaweefube w’okulaba nga balwanyisa obwavu mu nteekateeka y’Emmwanyi Terimba wamu n’okulanyisa Mukenenya.
Ono yeeyamye okukwatagana n’Obwakabaka basobole okuyambako mu kuyigiriza abantu okulima emmwanyi n’okusitula embeera zaabwe.
Bano baguze emijoozi gya kakadde kamu (1m) okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka nga 29 Novemba 2020.