Bya Gladys Nanyombi
Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alabudde abantu ba Ssaabasajja Kabaka ku kulonda bannabyabufuzi abatali beesigwa naye balonde abo abanaasobola okulwanirira Buganda awatali kwekomomma.
“Bannabyabufuzi abeesigika ntegeeza abantu abasobola okulwanirira Ssemasonga ettaano awatali kwekomomma, abalimu ensa era abaagala Kabaka waabwe nga tebamwegaana, bakalabakalaba era nga bayiiya, be bafuzi abeesigika.” Katikkiro bw’ategeezezza.
Okulabula kuno, Katikkiro okukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula oluwalo lwa bukadde obusobye mu 21 okuva mu ggombolola ezivudde e Kyaddondo ne Kyaggwe, leero ku Lwokubiri mu Bulange.
Eggombolola zino kubaddeko; Ssaabaddu Ntenjeru, Musaale Nagojje, Ssabagabo Lufuka, ne Musaale Busukuuma ezikiise embuga enkya ya leero ku Lwokubiri.
Mukuumaddamula asinzidde wano n’akubiriza abantu ba Beene okubeera abayiiya ate nga bagezigezi batuuke ku buwanguzi olwo Buganda nayo esobola okutuuka ku ntikko, kubanga ebisoomoozo bajja kuba basobodde okubivvuunuka.
Mayiga agambye nti Obuganda bubadde bulina abasekeeterezi okuva ku mirembe Emiteesa naye olw’okubeera abatetenkanya basobola okuleeta enteekateeka y’Ettoffaali eyazaala ebibala nga Masengere ne BBS Terefayina.
Owek. Mayiga abasabye okubeera abagezigezi n’abakuutira okukomya okwekubagiza mu biseera nga basanze okusoomoozebwa naddala mu mulembe Omutebi kuba okwesaasira tekulina we kubayambira.
Ono akubirizza Abaami ba Kabaka okubeera obumu nga bakola emirimu gy’Obwakabaka kiyambe ebitundu byabwe okukulaakulana era nabeebaza okunyikira okuwagira pulojekiti za Buganda nga bayita mu nkola eno ey’Oluwalo.
Ono asinzidde wano n’asiima bannabyabufuzi obakoze obutaweera okulaba nga Buganda n’ebitundu bye bakulembera bikulaakulana.
Mu bakiise Embuga kubaddeko Omubaka wa Makindye, Ssaabagabo Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene, Lulume Bayiga n’abalala.
Ate ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, owek. Joseph Kawuki, asabye abantu ba Buganda okwongera okujjumbira Oluwalo era n’abakubiriza okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Beene agagenda okubaayo nga 29/11/2020.
Ye Omwami w’eggombolola ya Ssaabaddu Ntenjeru okuva mu ssaza ly’e Kyaggwe, Sekaggya Richard, asabye Katikkiro okutunula mu nsonga z’ekibbattaka mu ssaza lyabwe kubanga abantu bangi abeezizza ettaka eritali lyabwe ate newatabaawo kibakolebwako.
Omukola guno gwetabiddwako abakulembeze b’amasaza okubadde Ssekibobo Elijah Bogere Lubanga, Ow’essaza ly’e Kyaddondo, Nakibirige Agnes Ssempa, bannabyabufuzi n’abalala bangi.
Bano baguze ssatifikeeti za Buganda era nebaweebwa n’epipalati ebibajjukiza okwekuuma akawuka ka Mukenenya.