Bya Gladys Namyalo
Kampala
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party (DP), azzeemu okulabula bannakibiina abatinkiza n’ebibiina ebirala era n’abawa amagezi nti awulira nga DP emuswaza agifulume nga bukyali.
Okulya mu ttama Mao yabadde ku kitebe ky’ekibiina ku Balintuma mu Kampala ku Lwokubiri ng’ayanjulira bannakibiinaCharles James Ssenkubuge agenda okukwata bbendera y’ekibiina ku kifo ky’obwaloodimmeeya.
“Bw’oba owulira nga DP ekuswaza, gifulume wabula tojja wano kutugamba mbu amasannyalaze gali mu kibiina bwekiti. Tewagenda kubeerawo kuttira ku liiso, oyo yenna gwe tunaalabako ku kadaala k’ekibiina ekirala tugenda ku mugoberawo agenda ewali omusana.” Mao bwe yannyonnyodde.
Mao agambye nti bangi ku bannakibiina baddukira mu bibiina ebirala nga balowooza nti ye wali amasannyalaze aganaabawanguza akalulu naye ng’ekituufu amasannyalaze bagaleka mu DP gye bava.
Ono annyonnyodde nti ku mulundi guno tasuubira munnakibiina yenna kuwagira muntu mulala era anaakikola si waakumuttira ku liiso.
Mao yagambye nti kisingako okusigala n’abantu abatono okusinga okubeera abangi naye nga mulimu ab’enkwe.
Ono yakuutidde Ssenkubuge obeera omumalirivu kuba obuwanguzi bubali mu ttaano era ng’okuva edda ekibuga Kampala kifugibwa kibiina kya DP.
Ye eyeegwanyiza obwaloodimmeeya, Charles James Ssenkubuge, yategeezezza nti ekibiina mw’ajjidde kirina emirandira era ng’alinze kimu kukulembera kibuga.
Ekibiina kino kisinzidde wano nekinenya poliisi olw’okutulugunya abantu baakyo wakati nga banoonya akalulu okutwala obuyinza mu 2021.
Omukolo gwetabiddwako bannakatemba okubadde; Aloysious Matovu Joy, Leilah Kalanzi, Andrew Benon Kibuuka ne bannabyabufuzi abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina ku bifo ebyenjawulo.