Bya Ssemakula John
Kampala
Ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko k’embalirira y’eggwanga bawakanyizza ekya Uganda okuzimba enguudo mu ggwanga lya DR Congo nga bagamba nti esooke ekole ku za Uganda kubanga nazo ziri mu mbeera mbi.
Bino ababaka baabyogedde eggulo ku Mmande bwe baabadde basisinkanye Minisita w’ebyentambula, Gen. Katumba Wamala wamu ne Minisita omubeezi ow’ebyenfuna David Bahati, abaabadde bagenze okusaba ennyongereza ya buse 3.4 obwa ssiringi za kuno.
“Ne bw’oba oyagala nnyo mulirwana wo, tosobola kusooka kutwala mwana we mu ddwaliro ate nga n’ewuwo ali mu mbeera mbi, olina kusooka kukola ku bizibu byo nga ggwe nga tonnatandika kuyamba bamuliraano.” Omubaka Cecila Ogwala bwe yagambye.
Kino kiddiridde Uganda okutuuka ku nzikiriziganya n’eggwanga lya Congo okuliyambako okuzimba enguudo eziweza kkiromita 223, kiyambeko okwanguya eby’entambula n’ebyensuubuligana wakati w’amawanga gano gombi.
Omulimu gw’okuzimba enguudo zino gwakuwemmenta obukadde bwa ddoola 334.5 naye nga ku zino Uganda ejja kusasulako obukadde 66.9 eza ddoola nga ze za ssiringi obuwumbi 254, bye bitundu 20 ku buli 100.
Omubaka Richard Othieno owa Budama West yagambye nti yeewuunya lwaki Minisita w’ebyentambula aleesewo enguudo ze Uganda eziri mu mbeera embi n’asalawo okunoonya ssente akole ez’e Congo kubanga enguudo zaffe ziri mu mbeera mbi nga n’ezimu yazikomya mu kkubo nga tebasobola kukkiriza ssente zino.
Minisita Bahati yagezezzaako okunnyonnyola ababaka n’abategeeza nga kino bwekiri ekikulu kubanga kigenda kuyunga ensi zino zombi kiyambe eby’ensuubuligana, eby’okwerinda wamu n’enkolagana naye ababaka nebagaana okumatira.
Yagasseeko nti kino kyasalibwawo abakulembeze bombi Yoweri Museveni ne Felix Tshisekedi okwongera okutumbula enkolagana.
Ssentebe w’akakiiko kano Amos Lugoloobi yatadde ku nninga Minisita Bahati annyonnyole lwaki bakendeezezza ssente ezirina okukola enguudo za Uganda n’ekigendererwa eky’okukola eziri mu Congo.
Ensonga eno, Bahati yagambye nti si ntuufu kubanga ekitongole kya Uganda National Roads Authority yaweebwa ebitundu 25 ku buli 100 nga zino ziwera obuwumbi 600 mu myezi esatu ezisooka egy’omwaka era nga bagenda kwongerwa obuwumbi 30 mu wiiki eno.
Gen. Katumba Wamala yasabye akakiiko okukkiriza babawe ssente kubanga enteekateeka eno nkulu eri eby’okwerinda wamu n’ensuubuligana wakati w’amawanga gombi.