Bya Gladys Nanyombi
Bulange – Mmengo
Nnaabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda, atabukidde abantu abeenyigira mu muze gw’okukabassanya wamu n’okutulugunya abaana abawala naddala mu maka ate gye balina okufunira emirembe.

“Ekirwadde kya COVID-19 kyakyusa embeera era nga kyennyamiza okulaba nga mu myezi etaano gyokka, Uganda efunye emisango egyekuusa ku kukabassanya abaana abawala 21000.” Nnaabagereka bw’agambye
Nnaabagereka yennyamidde nti kikuba ensonyi okulaba ng’ekitundu ku misango gino kibadde mu Buganda ate mu maka abaana gye balina okufunira emirembe, ekiteeka obulamu bwabwe n’ebiseera byabwe eby’omumaaso mu matigga.
Okulabula kuno Nnaabagereka akukoledde ku mukolo gw’okujaguza olunaku lw’omwana omuwala mu nsi yonna.
Omukolo guno gutegekeddwa aba Nnabagereka Development Foundation ne World Vision, mu Bulange e Mmengo wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Eddoboozi lyange, ly’ebiseera byaffe eby’omu maaso,” ate essira neliteekebwa ku ngeri eby’obuwangwa gyebiyinza okuyambako okumalawo omuze guno.
Maama Nnaabagereka avumiridde n’ebikolwa by’okweraguza n’okusaddaaka abaana ebyeyongedde ensangi zino nti bikome kubanga bityoboola eddembe ly’abaana.
Nnaabagereka agambye nti kikwasa ensonyi okulaba ng’abaana abasinze okutulugunyizibwa mu kaseera kano aka COVID-19, bali mu bitundu bya Buganda n’asaba abazadde naddala abasajja okusitukiramu.
Nagginda asabye abantu bonna okwenyigira mu lutalo lw’okulwanyisa ebikolwa by’okutulugunya abaana naddala abawala basobole okufuna ebiseera eby’omu maaso ebitangavu.
Agambye nti Obwakabaka nga buyita mu Nnaabagereka Development Foundation awamu n’ebitongole nga World Vision, UNDP, UN WOMEN n’ebirala, bufumvubidde okulaga nga ebikolwa bino bikoma mu bwangu.
Maama Nnaabagereka agambye nti eno y’emu ku nsonga lwaki baatandika Ekisaakaate n’Ekyoto okwongera okulambika abaana awamu n’okutumbula embeera zaabwe mu nsi eno ekyukakyuka.
Maama Nagginda akubirizza abazadde okudda ku nnono n’obuwangwa ku nkuza y’omwana omuwala, kibayambe okubeera n’ekigendererwa n’okubakulaakulanya.
Nnaabagereka era asinzidde wano n’awabula abazadde abalemedde ku kufumbiza abaana abatanneetuuka okukikomya mu bwangu kubanga kityoboola eddembe lyabwe.
Abasabye basuule eby’obuwangwa ebityoboola abaana abawala era babatwale ng’ekyomuwendo kibayambe okwekkiririzaamu bafuuke ab’omugaso.

Ajjukizza abayizi abadda ku ssomero okwewala Ssennyiga Corona nga banyweza ebiragiro ebimutangira.
Ye Minista w’ekikula ky’abantu mu Bwakabaka, Owek. Prosperous Nankindu, asiimye Nnaabagereka olw’okutumbula omwana omuwala era n’alaga ng’okutulugunya abaana bwe kuva ku butamanya awamu n’obwavu obususse mu bantu.
Ate ye Omukubiriza w’abataka, Augustine Kizito Mutumba, akubirizza abakulu b’ebika n’abazadde okukuza omwana omuwala mu mpisa era mu buwangwa, obutatyoboola ddembe lye.
Omukungu okuva mu UNDP, Annet Mpabulungi Wakabi asuubizza ng’ekitongole ky’amawanga amagatte bwe kigenda okwongera okukwasizaako Buganda okuyimusa omwana omuwala.
Omukolo guno gwetabiddwako abagenyi ab’enjawulo; Ssentebe wa bboodi ya World Vision mu Uganda, Susan Lubega Busuulwa, Kamisona w’ekikula ky’abantu Fred Ngabirano, Omuk. Francis Zaake, bannaddiini n’abaana abawala okuva mu bitundu eby’enjawulo.








