• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bulungibwansi siwa bijaguzo byokka – Owek. Kaawaase

Gambuuze by Gambuuze
October 3, 2020
in Amawulire
0 0
0
Bulungibwansi siwa bijaguzo byokka – Owek. Kaawaase
0
SHARES
22
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gladys Nanyombi
Katwe

Owek. Kaawaase n’abasuubuzi nga bakola bulungi bwansi e Katwe

Omumyuka asooka owa Katikiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, akubirizza abantu bulijjo obutakoma kukola Bulungibwansi mu nnaku za bikujjuko wabula bamweyambise bulijjo okutumbula obuyonjo kibataase ku ndwadde.

Owek. Kaawaase okusaba kuno akukoledde mu katale k’e Katwe mu Kyaddondo olwaleero ku Lwomukaaga ng’atongoza wiiki ya Bulungibwansi ey’omwaka guno ogwa 2020, wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Abaami n’obutonde bw’ensi.”

Prof. Kaawaase akulembeddemu abasuubuzi okulongoosa akatale n’okugogola emyala, era n’akuutira abasuubuzi bulijjo okubeera abayonjo.

“Bulungibwansi tekitegeeza ku mukola lumu nalumu okugeza ng’olwaleero, wabula kitegeeza okukola ebintu olubeerera, ebiganyula abantu abaawamu era bw’okola ekyo omusaala gw’ofuna kwe kuba nti obeera oyambye abantu n’ekitundu kyo,” Kaawaase bw’ategeezezza.

Prof. Kaawaase annyonnyodde nti enkola ya Bulungibwansi esaana eyigirizibwe abaana nga bakyali bato kisobola okubasigamu okutima ogulumirirwa abalala era kiyambe n’okukulaakulanya Buganda era ng’ebayamba n’okumanya obuwangwa bwabwe.

Kimanyiddwa nti, Ssaabasajja Kabaka yawaayo olunaku lwa Buganda olw’ameefuga olubaawo buli 8 Ogwekkumi okubeera olwa Bulungibwansi okusobola okujjukiza abantu be ku kwettanira obuyonyo n’okwekuuma nga balamu.

Omumyuka wa Katikkiro agumizza abantu ba Ssaabasajja Kabaka ku mirimu gy’embuga nti wadde ekirwadde kya COVID-19 weekiri, emirimu gya Beene gyakusigala nga gitambula mu nkola eya Ssaayansi.

Owek. Kaawaase asabye abantu okugula emijoozi basobole okudduka emisinde gy’amazaalibwa nga 29 Ogwokkumi n’ogumu omwaka Gino, buli omu addukire mu maka ge olw’okugezaako okwewala ekirwadde kya COVID-19.

Ate Minsita avunaanyizibwa ku Bulungibwansi n’ebyobulimu mu Buganda, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, bw’abadde ku mukolo guno akuutidde abantu okugondera ebiragiro bya COVID-19 era bakuume obuyonjo nga beekwata ku Bulungibwansi okukuuma obuyonjo.

Kaggo Agnes Nakibirige Sempa ategeezezza nti baakutandika okuwa ebirabo eri abasinze okukuuma obuyonjo mu butale ng’akabonero akabasiima.

Mmeeya wa Makindye, Kasirye Ali Mulyanyama, asiimye Obwakabaka olw’enteekateeka eno era n’asaba Buganda ebakkirize okusimba omuddo mu kisaawe ky’e Katwe basobole okutumbula eby’emizannyo mu kitundu kino.

Ku lwa abasuubuzi abakolera mu katale kano, Ssentebe waabwe Ssenkungu Davis asabye Obwakabaka okubataasa ku kizibu ky’abantu abaagala okwezza ettaka ly’akatale kano.

Beene yasiima emikolo gy’omulundi guno gikuzibwe mu ngeri ya Ssaayansi nga 8/10/2020 mu Lubiri lw’ e Mmengo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.