Bya Ssemakula John
Kampala
Kampala City Council Authority, ebadde ekubirizibwa Sipiika Abubaker Kawalya, mu lutuula olw’enjawulo leero ku Lwokutaano, eyisizza ekiteeso ekisiima emirimu gy’omugenzi Al-Hajji Nasser Ntege Sebaggala era nekkaanya abbulwemu oluguudo.

Ku makya omulambo gw’omugenzi gwaleeteddwa awateesezebwa era olutuula lwatandise olwo bakkansala n’abakulu mu kitongole nebakuba ku mugenzi eriiso evannyuma.
Oluvannyuma Sipiika Kawalya ayogedde ku Sebaggala ng’omusajja eyaleetawo obumu mu KCCA mu bisanja ebibiri bye yakulembera ekibuga.
“Sebaggala yafuba nnyo okumalawo ekizibu kya kasasiro era nga ye yatandika enteekateeka z’okufuna kkampuni eziyoola Kasasiro era ye yasikiriza abachina okuzimba kuno eddwaliro lya China Friendship Hospital e Naguru.” Kawalya bw’annyonnyodde.
Loodimmeeya wa Kampala, Erias Lukwago mu kwogera kwe, ategeezezza nti olukiiko lwe olwa KCCA lwasazeewo okumubbulamu oluguudo okujjukira emirimu gye yakolera ekitongole kino era n’asaba Sipiika ekiteeso kino kyanjulwe.
“Tugenda kunoonya oluguudo mu Kampala wakati tulubbulemu erinnya lwe, oba tunaalutuuma Sebaggala oba Seya, ekyo olukiiko lwe lujja okusalawo. Minisita bwe tuba tukyalina enguudo nga Kimathi mu Kampala n’endala, tewali nsonga lwaki owaffe naye tetumujjukira.” Omuloodi Erias Lukwago bw’asabye.
Lukwago bw’amaze okwogera ayise avunaanyizibwa mu by’ensimbi ku lukiiko lwe,Moses Kataabu ayanjule ekiteeso ekisaba Sipiika olukiiko lusiime emirimu gye eri ekitongole.

Ku nsonga eno, Kkansala wa Lubaga South, Ddamba Ismail, ayitiddwa okusemba ekiteeso wabula asoose kwawukana ku Kataabu ng’agamba nti eky’okumubbulamu oluguudo kibadde tekimala n’asaba banne bakkirize bazimbe ekkaddiyizo (Museum) bagituume Nasser Ntege Sebaggala, wabula wano abamu ku bakkansala bamusabye obutava ku mulamwa asembe ekiteeso.
Oluvannyuma bakkansala abalala okubadde Sseggirinya Moses, bawagidde ekiteeso era nekikubaganyizibwako ebirowoozo era oluvannyuma nekiyisibwa ng’oluguudo lwa Duster Street lugenda kukyusibwa lubbulwemu Hajji Nasser Ntege Sebaggala.
Loodimmeeya wa Kampala, Erias Lukwago, asaasidde ab’enju wamu n’eggwanga lyonna olw’okuviibwako omuntu abadde ow’omugaso mu ggwanga. Lukwago ategeezezza nti erinnya Sebaggala libadde livuga mu byenfuna, ebyobulamu, mu by’obufuzi olw’ensonga nti abadde musajja mukozi.
“Obulamu lugendo olujjudde ensozi n’ebikko era bw’atyo Katonda bwe yabukola, Seya ye musajja alabye bino byonna. Abaddeko omusajja ow’ettutumu ate n’afuna ebimusoomooza, bangi mujja kukkaanya nange, ekimu ku by’asinga okujjukirwako y’engeri gye/yafuukamu ow’amaanyi,” Lukwago bw’agambye.
Lukwago annyonnyodde nga ekifo kya Mmeeya mu nsi yonna bwekiweebwa abantu abava mu famire engundiivu era nga n’omuntu alina okukitwala alina okuba yabikkula ebitabo naye bino Sebaggala tebyamulemesa kulemera ku ky’ayagala era n’atwala entebe eno.
Lukwago agambye nti olutalo lw’okufaayo ku muntu wa wansi Sebaggala lwe yatandika, ajja kulutwala mu maaso era n’asaba Minisita wa Kampala wabeewo enteekateeka eyamba ku bantu abanaku abakolera mu kibuga Kampala.
Omukolo guno gwetabiddwako ebikonge ebyenjawulo okuli Minisita wa Kampala, Betty Amongi, Minisita w’ebyettaka Beti Kamya, eyali omumyuka wa Sebaggala Sarah Nkonge, Omubaka Saidah Bbumba, Omubaka Allan Ssewannyana n’ebikonge ebirala mu ggwanga.









