Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabasajja Kabaka asiimye okukulemberamu olutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya Siriimu mu Uganda okutuuka mu 2023, obuvunaanyizibwa bw’abadde nabwo okuva mu mwaka gwa 2007.

Kino kibikkuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, bw’abadde alagirira olunaku lw’okuddukirako emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka e Bulange Mmengo ku Lwokuna leero.
Ategeezezza nti ekigendererwa ky’emisinde gino kyakulaba nga bongera okulwanyisa ekirwadde kino naddala mu kiseera kino ekya Ssennyiga Corona.
“Nina essanyu okubategeeza nti aba UNAIDS basabye Ssaabasajja, atwale obuvunaanyizibwa bw’okutukulemberamu okulwanyisa Mukenenya okutuukira ddala mu 2023 era obuvunaanyizibwa buno, Ssaabasajja Kabaka yakkirizza okubutwala.” Mayiga bw’agambye.
Obuvunaanyizibwa buno Beene bwamuweebwa ettabi ly’ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku kulwanyisa ekirwadde kya Siriimu mu nsi yonna.
Ono agasseeko nti Beene ayagala abasajja be baba bakulemberamu olutalo lw’okulwanyisa Siriimu nga beekebeza n’okwekuuma ate abasangiddwa nga balina ekirwadde kino, batandike eddagala kibayambe okubajjanjaba.
“Ssaabasajja ayagala buli muvubuka, buli musajja akitwale nti buvunaanyizibwa bwe okumalawo Siriimu, tutuuke mu 2030 nga tumunyumyako bunyumya ng’ekirwadde ekyaliwo.” Mayiga bw’annyonnyodde.
Asabye abavubuka n’abaami okwewala embeera eziyinza okuleeta Siriimu nga balowooza ku bannyaabwe ne bannyinaabwe wamu ne bawala baabwe, kibayambe okutaasa be bali nabo.
Mayiga agambye nti abantu balina okukimanya nti Siriimu ne mu mbeera ya COVID-19 akwatiramu era nga ekigendererwa kyakulaba nti ensi ewona Ssennyiga Corona naye ate ereme kukwatibwa Siriimu.
Omukungu wa UNAIDS, Sarah Nakku, yeebazizza Ssaabasajja olw’okukulembera olutalo lw’okulwanyisa Mukenenya mu Uganda, Buganda, mu buvanjuba n’amaserengeta ga Ssemazinga Africa.
Nakku agambye nti wadde wabaddewo eddagala eriweweeza ku kirwadde kino okumala emyaka 30, naye buyinza okukya enkya ng’eddagala lino terikyalinawo. Noolwekyo nga buvunaanibwa bw’abantu bonna naddala abaami okukuuma abaagalwa baabwe.
“Mu Buganda omwami y’akulembera amaka era tusaba mutukulembere mu lutabaalo luno olw’okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya.” Nakku bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti abantu bwe baneetaba mu misinde gino, tebagenda kulwanyisa Siriimu yekka naye n’ekirwadde kya COVID-19 nga bakuuma emibiri gyabwe nga miramu.








