Bya Gerald Mulindwa ne Gladys Namyalo
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abantu okufaayo ennyo ku bye balya kibayambe okubeera abalamu era bakulaakulane.
Okusaba kuno Katikkiiro akukoledde ku Mestil wano mu Kampala ng’atongoza ekibiina kya Health Heart Foundation ekirafuubana okulaba ng’abantu bamanya ebifa ku mitima gyabwe wamu n’okugikuuma okuva ku ndwadde nga kitandikiddwawo eyali Minisita, Ritah Namyalo Kisitu.
Katikkiro Mayiga agambye nti omutima kintu kikulu nnyo mu mubiri kubanga gwe gukola ng’ebbomba epika omusaayi ogusaasaanira ebitundu by’omubiri ebyenjawulo olwo omuntu n’asobola okubeera omulamu era eyeeyagaza.
Mayiga ategeezezza nti emu ku ngeri abantu gye basobola okukulaakulana kwe kubeera nti abantu balamu era nga y’ensonga lwaki Obwakabaka bwasalawo okusoosoowaza ebyobulamu kuba abantu bwe babeera abalamu obulungi n’okwezimba kwanguwa.
“Tetuyinza kukyusa mbeera z’abantu era tetuyinza kwogera ku kuzza Buganda ku ntikko ng’abantu bonna balwadde.Twagala eggwanga eririmu abantu abalamu, eggwanga nga litambula lidda mu maaso awo nno eby’obulamu byankizo.” Mayiga bw’annyonnyodde.
Ono asabye abantu bulijjo okufaayo ku ebyo bye balya era nga kyandibadde kirungi beewale ebintu ng’amasavu, ennyama, butto, ssukkaali n’omunyu era bakendeeze ne ku bungi bw’emmere gye balya kubanga omubiri mu kikula kyagwo tegwetaaga mmere eyitiridde.
Katikkiro alaze akabi akali mu kunywa omwenge oguyitiridde ne Ssigala wabula bayitirize okulya enva endiirwa ezifumbiddwako ekitono kubanga omubiri gwe byagala.
Akubirizza abantu okukola dduyiro awamu n’okufuna akadde okutambulamu kiyambe okukuuma omubiri nga mulamu bulungi kiyambe omutima obutalumbibwa ndwadde.
“Mu bitundu by’omubiri nze ndowooza nti mutima gwe gusinga obukulu kubanga bwe gubeera omulwadde ebitundu ebirala byonna tebikola bulungi.” Mayiga bw’agasseeko.
Katikkiro asiimye abatandisi b’ekibiina kino era ne yeeyama okuyambako mu ngeri yonna esoboka okutuukiriza ebigendererwa by’ekibiina kino era kiyambe abantu ba Buganda ne Uganda okubeera abalamu.
Ye Owek. Ritah Namyalo Kisitu agambye nti, ekibiina kino bakitandise n’ekigendererwa okulaba nga bayambako emirimu egikolebwa abasawo okumanyisa abantu ebikwata ku bulamu bwabwe naddala ku mutima n’obulwadde obugulumba.
“Twakizudde nti abantu bangi tebamanyi nti balwadde ba mutima, tebamanyi nti balina Puleesa ate nga mu Uganda omuntu omu ku bana abafa, abeere n’ekirwadde ekyekuusa ku mutima.” Owek. Namyalo bw’agambye.
Asabye abantu bulijjo okwekebeza endwadde nga Ssukaali ne Puleesa kibayambeko okumanya we bayimiridde era ng’eno y’ensonga lwaki batandiseewo kaweefube atuumiddwa “Manya W’oyimiridde,” ayambe abantu okumanya ebifa ku bulamu bwabwe.
Wabula ono yennyamidde olw’abazadde abatafuddeyo kukebeza baana baabwe ndwadde nkambwe ate nga bakimanyi nti ebirwadde bino tebisosola mu myaka.
Omukolo guno gwetabiddwako omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Waggwa Nsibirwa awamu n’abakungu ba Ssaabasajja Kabaka abawerako.