Bya Gerald Mulindwa
Ssingo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, olwaleero atongozza omwaka B ogwa sizoni y’Emmwanyi Terimba, n’akuutira abantu ba Kabaka naddala abakulembeze, bulijjo okubeera eky’okulabirako eri abantu baleme kukoma ku ng’ombo ya ‘Kola nga bwe ng’ambye.’
Bino Mukuumaddamula abyogeredde ku kyalo Bulyankuyege mu ggombolola y’e Bukomero e Ssingo era ng’agitongolezza mu nnimiro y’Omwami Lawrence Ssemwanga. Akubirizza abantu okulima nga basimba emmwanyi kibayambe okwekulaakulanya.
Mayiga atenderezza obukozi bwa Ssemwanga okuviira ddala ng’akyali mu Ttabamiruka w’abavubuka era nga wano Beene we yasinziira n’amulonda okubeera omumyuka w’eggombolola ate ng’akyali muvubuka.
“Abakulembeze batera okutugamba nti tokola nga bwe nkola naye kola nga bwe njogera, nakyo kikola naye ekisinga kwe kukola naawe ky’oyogera.” Katikkiro Mayiga bw’alambise.
Mayiga asabye abalimi mu kitundu ky’e Bukomero, Buganda ne Uganda, okumulabirako naddala abakulembeze okukimanya nti kibeera kirungi okukola bye boogera n’okulagira abalala okukola.
Ono asinzidde mu kaweefube ono n’ategeeza nti ekimu ku bintu ebisinze okusiba abantu mu bwavu, kwe kubulwa emmere era bw’atyo n’asiima Omukyala Deziranta Namwanje olwokuwuliriza ekiragiro kya Kabaka, n’ava ku kibuga n’ayingira ekyalo okulima.
“Omukyala ono buli luvannyuma lw’ekiseera ekigere, Katikkiro w’ebyalo amutikka emmere n’agireeta ku kibuga, Kabaka n’agiriisa abantu be, akikola n’akiddamu era twazze wano okumwebaza olw’obunyikivu.” Mayiga bw’annyonnyodde.
Owek. Mayiga asiimye Namwanje olw’okutikkanga Amakula entakera n’agaweereza Ssaabasajja asobole okulabirira abantu be era n’asaba abalala okumulabirako.
Okusiima emirimu gye, Katikkiro Mayiga amutonedde ekitabo kye yawandiika eky’ettoffaali, kimuyambe okwongera okwekulaakulanya n’okubaako ky’ayiga.
Agambye nti wadde nga kaweefube w’Emmwanyi Terimba yasoosoowaza mmwanyi, naye alimu n’ebirime ebirala ng’ebitooke era nga lino lye limu ku makubo agagenda okugobako abantu ba Ssaabasajja Kabaka obwavu.
Mu kulambula kuno, Katikkiro Mayiga awerekeddwako Omutaka Muteesaasira, Abaami b’amasaza ne Bannaddiini.