• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssennyiga Corona aleme baziyiza kutuukiriza buvunaanyizibwa- Owek. Mugumbule

Gambuuze by Gambuuze
September 29, 2020
in Amawulire
0 0
0
Ssennyiga Corona aleme baziyiza kutuukiriza buvunaanyizibwa- Owek. Mugumbule
0
SHARES
19
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gladys Nanyombi
Bulange

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwagga Mugumbule, akubirizza abantu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe baleme kwekwasa Ssennyiga Corona kubanga ekizibu ky’ekirwadde kino tekigenda kuggwaawo kati.

Sipiika Mugumbule nga atikkula oluwalo

Owek. Mugumbule yagambye nti wadde Ssennyiga Corona agootaanyizza emirimu, naye abantu tebalina kumukozesa nga kyekwaso okukola bye bateekeddwa okukola awamu n’okubaako okuyamba kwebakola nebwekubeera kutono kutya.

“Ssennyiga Corona newankubadde w’ali ate tatuggyamu nkola yakutuukiriza buvunaanyizibwa bwaffe, kubanga Katonda ensi yaffe yagiwa omukisa era enkuba etonnya, omusana gwaka ate ne tusiga ne mmere. Noolwekyo tusinga nnyo bannaffe ab’ensi endala be twegomba kubanga bo ekirwadde kibayisiza bubi nnyo.” Mugumbule bw’ategeezezza.

Owek. Mugumbule okwogera bino abadde ku Bulange leero ku Lwokubiri ng’atikkula oluwalo lwa bukadde mwenda obuleeteddwa okuva mu Masaza okuli; Mawokota, Ssingo ne Bulemeezi.

Omukubiriza akubirizza abaami ba Kabaka okujjumbira okugabana obuvunaanyizibwa bwe balina n’abakulu abalala okuva ku mitendera gya gavumenti z’ebitundu egy’enjawulo kiyambe emirimu gy’Obwakabaka okutambula.

Abasabye bafube okukolaganira awamu bayambe okukola ku bizibu by’abantu ng’akawuka akalya emmwanyi.

“Musobola okugonjoola obuzibu obubalumba ng’obuwuka obulya emmwanyi kubanga buli mitendera kuliko ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’obulimi.” Owek. Mugumbule bw’annyonnyodde.

Ono akubirizza abantu ba Beene okugenda mu maaso n’okukola emirimu gy’Omutanda wadde embeera ya Ssennyiga Corona esoomooza, kubanga Obuganda bukyaliwo era nga bukyetaaga okukulaakulanyizibwa.

Abaleese oluwalo abakubiriza okwongera okutambuuza ennono za Buganda naddala okukiika Embuga mu nkola eno ey’Oluwalo.

Ate ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, asabye abantu ba Kabaka okunnyikiza okukola Bulungibwansi n’okukuuma obuyonjo naddala mu kaweefube w’okujjukira ameefuga ga Buganda agabindabinda.

Kawuki yennyamidde olw’abantu abalemeddwa okutuukiriza ebiragiro bya COVID-19 n’asaba Abaami ba Kabaka okwongera okukubiriza abantu ku nsonga eno.

Omwami w’essaza ly’e Ssingo, Bbale Steven asabye Katikkiro okutunula mu nsonga y’obuwuka obulya emmwanyi zaabwe kubanga bubakendeereza mu by’enfuna ate nga bangi mu kulima emmwanyi mwe baggya ensimbi ezibabeezaawo.

Bano baguze ssatifikeeti za Buganda nebaweebwa n’ebipalati ebibajjukiza okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.