• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Gavumenti egenda kugula ettaka ly’ekkanisa y’e Ndeeba eyamenyebwa

Gambuuze by Gambuuze
September 29, 2020
in Amawulire
0 0
0
Gavumenti egenda kugula ettaka ly’ekkanisa y’e Ndeeba eyamenyebwa
0
SHARES
21
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Kampala

Gavumenti emalirizza enteekateeka z’okugulira Abakulisitaayo ba St. Peter’s Church mu Ndeeba, ettaka eryali lituddeko ekkanisa eno era nga likaayanirwa omugagga Dodoviko Mwanje amanyiddwa nga Dodo n’ekkanisa eno.

Ekifo ewaali ekkanisa, gavumenti gyeyagala okugulira abakulisitaayo

Omugagga Dodovico ne gyebuli eno akyakalambidde ng’agamba nti ettaka lirye era enkaayana zino ze zaavaako okumenya ekkanisa eweza emyaka 40 Ku biragiro by a kkooti, era okusinziira ku biwandiiko lyamuguzibwa ab’enju y’Omumbejja Evelyn Nachwa.

Okusinziira ku kkooti ettaka lino lyakyusibwa mu bukyamu okudda mu mannya ga Bisoopu Danistani Nsubuga, Rev. Yuda Kitaka ne Esau Kizito era wano we yasinziira n’eragira ekkanisa okuva ku ttaka lino.

Wabula oluvannyuma lw’okugimenya, Pulezidenti Yoweri Museveni yavumirira ekikolwa kino era n’asuubiza gavumenti ye okuddamu okuzimba ekkanisa eno.

Waliwo n’ekiwandiiko era ekyayisibwa mu kyapa kya Uganda Gazette nga 28 Ogwomunaana 2020 nga Minisita w’ebyettaka alabula abantu okwesonyiwa ettaka lino erisangibwa ku bulooko nnamba 7 Poloti 39 kubanga gavumenti yali eryagala era ng’egenda kuddamu okuzimbako ekkanisa eno.

Mu mateeka singa Minisita abeera mumativu nti ettaka gavumenti ly’egenda okutwala ligenda kugasiza wamu abantu, ekitundu nnamba 3 mu tteeka erikkiriza gavumenti okutwala ettaka (Land Acquistions Act) limuwa obuyinza okweddiza ettaka eryo.

Etteeka lino liragira gavumenti okulaga ky’egenda okulikozesa era eriyirire oyo yenna abadde nannyini lyo era wano ekibeera kiddako ye gavumenti okuleeta omubalirizi waayo n’alaba ssente ezigya mu ttaka lino olwo ne lisasulwa.

Ekya gavumenti okugulira ekkanisa ettaka lino kireeseewo ebibuuzo kubanga waliwo omusango oguli mu kkooti ento e Makindye ng’eno abantu 22 okuli omugagga Dodovico n’abapoliisi abawerako bavunaanibwa omusango gw’okubba ettaka lino, okujeemera ebiragiro, okwekobaana bazze omusango awamu n’okwonoona ebintu.

Ku nsonga eno, Munnamateeka Max Mutabingwa yategeezezza nti ekikolwa kya Minisita okuyisa ekiragiro ng’ayagala ettaka lino, kiraga nti gavumenti ekkiriza nti ettaka lino lya muntu mulala era nga kkooti yasalawo ku ani nannyini ttaka omutuufu.

Ono yasabye kkooti egobe omusango oguvunaanibwa Dodovico ne banne kubanga bano bavunaanibwa omusango ogukwata ku ttaka gavumenti ly’eyagala okugula erikulaakulanye.

Omulamuzi wa kkooti ento e Makindye, Prossy Katushabe yasabye abo bonna abawakanya ekya gavumenti okweddiza ettaka lino, okuwaayo okwemulugunya kwabwe eri Ssaabawaabi wa gavumenti.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.