Bya Gerald Mulindwa
Nakawuka
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yeetabye ku mukolo gw’okuziika nnyina omuto Florence Nakajubi Kasozi aziikiddwa leero ku Mmande e Ssakabusolo- Nakawuka mu Busiro.
Nakajubi abadde mutuuze we Kyebando era nga bazaalibwa wamu ne maama wa Katikkiro Mayiga era nga yafudde kirwadde kya mutima ekimaze ebbanga nga kimusumbuwa.
Mayiga asinzidde ku mukolo guno n’asaba abantu bulijjo okulambulagananga era bakomye okwekwasa emirimu kubanga tegiggwa.
“Tulina okufuna eky’okuyiga mu bulamu bwa bamaama bano, William oyo bw’annoonya emirundi ebiri nga tandaba ng’anvaako, naye bannyaffe si bwe baali.” Katikkiro Mayiga.
Akuutidde ab’enju okwagalana nga bannyabwe bwe babadde kubanga mu nsi muno eky’obugagga kye bayinza okubeera nakyo be bantu, era nga kino kye kisobola okubayamba okunyweza okwagalana wakati waabwe.
Katikkiro Mayiga alaze ng’ekirwadde kya COVID-19 bwe kituwadde eky’okuyiga kubanga bulijjo abantu babadde beekwasa obutabeera na budde naye olw’ekirwadde kino, waaliwo akaseera ng’abantu abasinga tebakola naye era tewali kyabaawo.
Mayiga asabye ab’enju okwenoonya wamu n’okuwuliziganya kibayambe okwongera okunyweza oluganda awamu n’okumanyagana.
Ono asiimye omugenzi olw’okuleka ng’abaana be abakozeemu omulimu era n’abakuza mu ngeri esinga obulungi wadde ng’oluusi yali abakambuwalira naye nga byonna yabikola lwa mukwano.