• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Nabillah Naggayi awangudde kkaadi ya NUP ku Bwaloodimmeeya

Gambuuze by Gambuuze
September 28, 2020
in Amawulire
0 0
0
Nabillah Naggayi awangudde kkaadi ya NUP ku Bwaloodimmeeya
0
SHARES
20
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kamwokya

Omubaka wa Kampala omukyala Nabillah Naggayi Ssempala, aweereddwa kkaadi y’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) ku kifo ky’Obwaloodimmeeya bwa Kampala.

Omubaka Nabillah Naggayi Ssempala

Leero ku Mmande, Nabillah akedde ku kitebe kya kibiina kya NUP okusunsulwamu era nga ono ne munne Hajji Kadra Ssali bwe babadde bavuganya balaze ebisaanyizo byabwe era bwekatyo akakiiko k’ekibiina ak’ebyokulonda nekasalawo kkaadi eweebwe Nabillah Naggayi Ssempala.

Okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda, Nabillah yafunye obubonero 166 ku obwo 200 ab’akakiiko bwe babadde bataddewo ate ye Ssali ku 200 yafunyeko 87.

Nabillah oluvannyuma lw’okuwangula kkaadi eno ategeezezza nti buno buwanguzi bw’amaanyi era nga mwetegefu okuvuganya era aleetere ekibiina kino obuwanguzi.

“Abantu b’e Kampala beetaaga entandikwa empya, Pulezidenti abeere mupya nga ne Loodimmeeya mupya. Bannayuganda olunaamala okulonda Robert Kyagulanyi nga Pulezidenti waabwe nga olwo baddako nze nga Loodimmeeya waabwe.” Naggayi bw’alambuludde.

Naggayi yava mu Forum for Democratic Change (FDC), mw’abadde ayitira okwesimbawo mu palamenti okumala emyaka 15. Bweyammibwa kkaadi ng’ayagala okuvuganya ku Bwaloodimmeeya bwa Kampala,

Nabillah yalangira abakulu mu FDC olw’okumma abakyala omukisa okutuula ku bifo ebinene mu kibiina.

“Ndi musanyufu okulaba nga mu NUP abakyala baweebwa enkizo.” Naggayi bw’agambye.

Nabillah Naggayi yasaba kkaadi y’ekibiina oluvannyuma lwe yali agiwangudde Hajji Latif Ssebagala okugisuulawo olwo abakulu mu kibiina nebaddamu okulanga.

Mu kiseera  ky’ekimu, Omuyimbi Joseph Mayanja (Jose Chameleon) abadde akyawakanya eky’okumulemesa kkaadi eno era ng’oluvannyuma lw’okulondawo Ssebagala, yavaayo n’awandiikira akakiiko kano nga yeemulugunya ku butali bwenkanya obwamukolebwako.

Kati Nabilah Naggayi asuubirwa okuvuganya Loodimeeya aliko Erias Lukwago, Omuyimbi Daniel Kazibwe (Raggae Dee) owa NRM awamu n’Omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleone.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist