Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kittavvu ky’abakozi ekya National Social Security Fund (NSSF), kirangidde okuwa batereka nakyo amagoba ga bitundu10.75 ku buli kimi, omwaka guno olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekyatabangula ebyenfuna mu nsi yonna.
Kino kirangiriddwa Minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija, leero ku Mmande bw’abadde mu lukung’aana lwa bonna olwa buli mwaka olutudde ku Serena Hotel mu Kampala.
Okusinziira ku Kasaija, ensimbi eziwerera ddala Akase kamu n’obuwumbi 14 (1.14 Trillion) ze zigenda okusasulwa eri bakasitoma baabwe omwaka guno.
Amagoba gano eg’ebitundu 10.75 ku buli 100 gakkiriddeko wansi ku ago agaali gasuubirwa okusasulwa omwaka ogudde ag’ebitundu 11 ku buli 100 ate nga gali wansi ddala bw’ogeraageranya n’omwaka 2018 agaali ku bitundu 15 ku buli 100.
Minisita Kasaija yasabye bannayuganda okwewala okumala gasaasaanya, naye beeteekemu omutima ogutereka n’okufissa ku nsimbi ze bafuna.
Wabula abatunuulizi b’ebyenfuna bagamba nti gano si mabi nnyo okusinziira ku mbeera y’ebyenfuna eri mu ggwanga olw’ekirwadde kya COVID-19.
Ssabbiiti ewedde, Ssenkulu wa NSSF, Richard Byarugaba yategeezezza bannamawulire nga bwe bagenda okuwa bakasitoma amagoba agatali waggulu wa bitundu 9 ku buli 100 olw’okuba Ssennyiga Corona yatabangula emirimu gyabwe.
Byarugaba yategeezezza olukung’aana luno nti ekiragiro kya bbanka enkulu eri bbanka ez’enjawulo obutaddamu kuwa magoba eri abalina emigabo, kyakosa ssente ezikung’aanyibwa.
“Omwaka oguwedde twakung’aanya obuwumbi 77 naye zino zaagudde kati ziri obuwumbi 66 olw’ekiragiro kya bbanka enkulu.” Byarugaba bwe yagambye.
Okusinziira ku Byarugaba, ssente ezibadde zikung’aanyizibwa zibadde zikulira ku bitundu 14 ku buli 100 naye kati zisse okutuuka ku bitundu 5 ku buli 100 olwa Corona.
Wabula Byarugaba yasuubizza ng’ekitongole kino bwe kijja okwongera okukula era nga kati ebintu ebikalu ekitongole bye kirina biweza Obusse bwa Silingi za Uganda 13.3.