Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabaminisita wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, leero ku Lwokutaano awaddeyo emmotoka z’ekika kya Ambyulensi eri ekitongole kya Red Cross ne ttiimu ezidduukirira abagudde ku bubenje ku nguudo mwasanjala eziri mu ggwanga, kiyambeko okutaasa obulamu.
Emmotoka zino eziwera 10 ezisoose okuleetebwa era nga ziri ku ddaala lya ‘Class B’, zibalirirwamu obuwumbi bwa Uganda bubiri bulamba.
Ssaabaminisita Rugunda asiimye ekitongole kya Red Cross olw’okuyambako okuleeta emmotoka zino n’agattako nti kino kyakuyambako okukyusa eby’obulamu mu bitundu ebirimu enguudo zino.
“ Buno buwanguzi bw’amaanyi. Enkolagana ne Red Cross nkulu nnyo era kino ffenna twakiraba e Buduuda ne mu kiseera ng’eggwanga lirumbiddwa COVID-19.” Rugunda bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Ssaabaminisita, gavumenti yawaddeyo obuwumbi 8 okuleeta emmotoka zino.
Ate ye Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine, yeebazizza aba Red Cross olw’omulimu gwe bakola mu ggwanga awamu n’enkolagana ennungi gye balina ne gavumenti.
“ Twagala okulaba nga mu myaka esatu egijja buli kitundu mu ggwanga kiweebwa emmotoka ezaakyo wamu n’ekifo we bafunira essimu eziraga abafunye obubenje n’ebifo mwe bali.
Tusuubira nti Ambyulensi zino zijjja kukwatibwa bulungi.” Atwine bwe yagambye.
Ssaabawandiisi wa Red Cross mu Uganda, Robert Kwesiga agambye nti omuwendo gwa Ambyulensi zino gugenda kweyongerako.
“Ambyulensi zino zigenda kutandikira ku nguudo okuli; olwa Kampala-Masaka-Mbarara- Kabale, Lira-Mbale, Kampala-Gulu, Kampala-Malaba ate ebbiri zigenda kusigala mu Kampala n’emiriraano.” Kwesiga bw’annyonnyodde.