Bya Ssemakula John
Kampala
Wakati ng’abalwadde ba Ssennyiga Corona beeyongera mu ggwanga, Minisitule y’ebyobulamu yasaba abantu abamu okwejjanjabira awaka okwewala omujjuzo mu malwaliro, kati Minisitule y’ebyobulamu egenda kufulumyawo ebiragiro ebirina okugobererwa okwejjanjaba wamu n’enkwata y’abalwadde ba COVID-19 abali awaka.
Kizuuliddwa nti abalina ekirwadde kino abantu 400 abazuuliddwamu ekirwadde mu Kampala bakyalemedde mu maka gaabwe nga bwe balinda abakugu ba Minisitule okubanona babatwale mu malwaliro.
Okusinziira ku baminisitule, ebiragiro bino bigenda kuteekekebwa mu kiwandiiko ekigenda okuyamba amaka ag’enjawulo okumanya kye bateekeddwa okukola nga beezuddemu omulwadde buno kisobole okutaasa abalala obutakwatibwa.
Dayireekita w’ebyobujjanjabi mu Minisitule y’ebyobulamu Dr. Charles Olaro yategeezezza nti ebiragiro bino bikulu nnyo naddala mu kiseera kino ng’abakwatibwa ekirwadde kino beeyongera.
“Tuzuula abalwadde bangi okusinga abo be tusiibula mu kadde kano era abantu balangiddwa okugira nga basigadde ewaka nga bwe balinda okutwalibwa mu malwaliro naye nga bateekwa okumanya kye balina okukola.” Olaro bwe yagambye.
Ensobi mu Minisitule y’ebyobulamu ebimu ku biragiro bino kuliko azuuliddwamu ekirwadde okubeera mu kisenge eky’enjawulo era babeeko omuntu gwebawa omulwadde okumujjanjaba era bwekiba kisoboka ono abeere nga muvubuka kuba tebakwatibwa mangu.
Minisitule egenda kulambika ku ngeri ekisenge, engoye n’ebisenge gye birina okufuuyiramu n’okwetaasa ku kirwadde kino.
Ebiragiro bino bigenda kufulumizibwa wiiki eno oba ku ntandikwa ya wiiki ewedde.
Kinajjukirwa nti enkola eno ey’okujjanjabirwa ewaka yatandikibwa dda okukozesebwa mu mawanga nga Amerika ne Bungereza era ng’abalwadde bokka abali obubi be bakkirizibwa okujjanjabirwa mu ddwaliro