Bya Ssemakula John
Kasangati
MINISITA wa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki atabukidde ab’eggye ekkuuma byalo n’amagye amalala, abeesenzezza ku mbuga z’Amasaza ez’enjawulo awatali lukkusa era nebazikozesa mu ngeri eweebuula ekitiibwa ky’embuga zino.
Kawuki yategeezezza nti bano bali ku masaza okuli; Kyaddondo, Ggomba, Bugerere awamu ne Kyaggwe ku ggombolola okuli Ssisa – Musaale ne Kawolo mu Kyaggwe era nga zino zonna zeetooloddwa obusiisira obulabisa obubi embuga zino.
“Tetwetaaga bujoozi ate bususse, bannaffe bwebandibadde baagala okukozesa embuga, banditusabye netugamba nti tetujja kusobola bateeka mu mbuga olw’ekitiibwa kyayo naye mugira mubeerako wali ku bukwakkulizo buno era okumala akaseera bwekati,” Kawuki bwe yeemulugunyizza.
Ono yawabudde eggye lya UPDF bulijjo okusookanga okubatuukirira, bwe baba babuliddwa ow’okubeera olwo newabaawo enzikiriziganya so si kuwamba buwambi nga bwe bakoze.
Minisita Kawuki yasuubizza okwongera okulabulula ensonga eno era n’ensonga zonna ez’ekibbattaka eziri mu kitundu ky’e Kyaddondo.
Bino Kawuki yabyogeredde Kyaddondo bwe yabadde alayiza olukiiko olwalondeddwa Kaggo Agness Ssempa Nakibirige n’omumyuka we Ssaalongo Ahmed Magandazi awamu n’omukungu Bakulumpagi okubayambako okutambuza emirimu.
Minisita Kawuki yasabye Abamasaza okukwatagana n’Abamagombolola wamu ne minisitule ezibatwala kiyambe okuzza Kyaddondo ku ntikko kuba Buganda okudda ku ntikko amasaza ge galina okusookayo.
Kawuki yasabye Abamagombolola okutuusa obuvunaanyizibwa bwabwe eri Kaggo ne wansi mu bantu nga bayita mu kulondoola emirimu egikolebwa ebitongole eby’enjawulo ku ssaza kiyambe okunyweza Buganda.
Bano Kawuki yabawadde eky’okulabirako ky’Obwakabaka obufuga eggwanga lya Thailand n’ategeeza nti buno bwaliyamba nnyo okulaakulana era nga kigambibwa nti Kabaka waalyo yagenyiwalako mu Buganda okumala akaseera ng’azze okufuna amagezi ag’okulemberamu abantu be.
Minisita yasabye abaami n’abalondeddwa okukulira ebitongole okwewala okubeera abaami ab’emikolo abalinda okwetala nga Beene, Katikkiro oba baminisita bajja naye bafube okunyikiza obuweereza wansi mu bantu.
Kawuki yasinzidde wano n’akubiriza abavubuka okujjumbira enkiiko ku ssaza wamu n’okwenyigira mu nteekateeka ez’enjawulo basobole okuyiga obuweereza bwebutambula era batendekebwe.
“Abavubuka Kabaka be yakwasa omulembe Omutebi banaayiga batya mu bikolwa nga tebazze kulaba?” Minisita Kawuki bwe yabuuzizzza.
Kaggo Ssempa yasabye Minisita Kawuki babayambeko okuteeka pulojekiti ez’enjawulo ku ttaka ly’embuga kiyambe okulitaasa ku bantu abeesomye okulinyaga.
Nakibirige yakubiriza abaakakasiddwa okukola ennyo emirimu gya Beene kiyambe okukulaakulanya abantu ba Buganda mu Ssaza lino.
Abaalondeddwa beeyamye okuweereza Nnamuswa wamu n’okulaba ng’ebitongole bye baweereddwa binnyikiza obuweereza wansi mu bantu b’e Kyaddondo.