Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ebyettaka, Beti Olive Namisango Kamya, ategeezezza nti gavumenti etaddewo ebiragiro ebikakali eri bamusigansimbi abava ebunaayira abaagala okukolera ku ttaka lyayo, kiyambeko okumalawo ababadde balikozesa obubi.
Kamya yategeezezza bannamawulire nti Kabbineeti yakisazeewo nti buli Musigansimbi ava ebweru ng’ayagala okuweebwa ettaka alina okubeera n’obukakafu obulaga nti alina ebitundu 60 ku 100 eza ssente ze yeetaaga okutandika ekkolero oba kkampuni kuno.
Ono yalambuludde nti Musigansimbi era alina okubeera n’obukakafu obulaga nti waakiri ebitundu 30 ku buli 100 z’agenda okwewola mu bbanka zigenda kumuyamba kutandika kukola mirimu.
Minisita Kamya yagambye nti tewakyali bya bamusigansimbi kukozesa ttaka libaweereddwa okusukka ebbanga lya liizi eribaweereddwa era ng’alina kulikolerako ekyo kyennyini kye yalisabira.
Musigansimbi bw’aba ayagala okukozesa ettaka lino okusukka ku bbanga eriba limuweereddwa, alina okusooka okufuna olukkusa okuva mu gavumenti.
Mu nkola empya, bbanka zirina okusooka okuwandiikira gavumenti nga zisaba olukkusa oluwa Musigansimbi ssente z’okugula ettaka era nga kino kiri eri gavumenti okukkiriza okusaba kuno oba okugaana nga basinziira ku ngeri gy’aa agobereddemu obukwakkulizo bwa liizi obwamuweebwa.
Kamya yalambuluddde nti singa Musigansimbi alemwa okutuukiriza obukwakkulizo, ettaka lijja kuddira bbanka mu mateeka era nga kijja kubeera eri bbanka n’akakiiko k’ebyettaka okunoonya omulala gwe baliwa. Wano Kamya agamba nti enkizo bajja kusooka kugiwa muntu bbanka gw’enaaba ereese.
Okusinziira ku Kamya ebiragiro bino bireeteddwa okunyweza ekiragiro ekyayisibwa gavumenti omwaka oguwedde nga bigaana Musigansimbi yenna eyaweebwa ettaka lya gavumenti okulitunda.
Minisita Kamya yannyonnyodde nti Bamusigansimbi babadde bayitiridde okutunda ettaka, okuliwaako abalala liizi ate nga n’abamu balitunda awatali kusooka kufuna lukkusa okuva mu gavumenti.
Kamya yalabudde Bamusigansimbi abalemedde ku muze guno n’asaba ettaka balikozese okusinziira ku ndagaano ezabaweebwa.
Minisita yalaze nti kino kijja kuyamba okwewala bannakigwanyizi abafuna ettaka nga tebalina busobozi kulikozesa awamu n’abo abalifuna nga baagala okubaako be baliguza.
Ebiragiro bino ebipya biragira Musigansimbi yenna ayagala ettaka, okuteekayo okusaba kwe mu bbanga lya myezi ebiri era nga bw’aba waakusussa mu budde buno, ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka lino kirina okunnyonnyolwa.
Kamya yategeezezza nti singa Musigansimbi aweebwa ettaka alina okuwandiika mu butongole ng’akkiriza omukisa gw’okutwala ettaka lino, nga kino alina kukikola mu mwezi gumu olwo akakiiko nekamuwa liizi ku ttaka mu bbanga lya wiiki emu.
Yeekokkodde nga bwe waliwo abantu ababadde basusse okulya enguzi ku bamusigansimbi nga babasuubiza okubawa ettaka n’alambulula nti ebiragiro ebipya byakukendeeza ku muze guno.
Yalabudde nga bwe bagenda okubonereza abanaasangibwa nga ettaka lino balitunda oba okumenya endagaano y’ebyo bye balina okulikolerako nga basazaamu liizi zaabwe.