• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Bannabyabufuzi temwawula mu bantu ba Kabaka – Owek. Kaawaase

Gambuuze by Gambuuze
September 22, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Bannabyabufuzi temwawula mu bantu ba Kabaka – Owek. Kaawaase
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Owek. Kaawaase nga atikkula oluwalo mu Bulange

Bya Gladys Nanyombi

Bulange

Omumyuka asooka owa Kattikiro, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase asabye abeesimbyewo ku bifo eby’enjawulo okutayawula mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka mu kiseera kino eky’okunoonya akalulu, kubanga eby’obufuzi bya kaseera buseera.

Owek. Kawaase yategeezezza nti wadde ng’eby’obufuzi abantu babyagala okufiirawo naye bino biggwa nga eby’okulonda biwedde naye ate abantu basigalawo nga kirungi okukuuma enkolagana n’okwewala enjawukana.

“Tugenda mu by’obufuuzi naye mbasaba tebibawulayawula kubanga bwe binaggwa mulirwanaawo ajja kusigala mulirwanaawo, eky’okuba nti munno tawagira langi gy’otawagira, tekikutemesa bitooke bye.” Owek. Kaawaase bwe yabakuutidde

Ono okwogera bino abadde ku Bulange ku Lwokubiri ng’atikkula oluwalo lwa bukadde butaano obuleeteddwa okuva ggombolola ezivudde mu Masaza okuli; Kyaggwe, Gomba ne Ssingo.

Kaawaase yajjukiza abaami ba Kabaka okwettanira tekinologiya abayambe okutambuza emirimu gya Beene mu kaseera kano aka Ssennyiga Corona.

“ Mweyambise tekinologiya naddala okw’essimu okutambuza emirimu kubanga olw’ekirwadde ki Ssennyiga Corona emirimu gibadde gitambula mu kimpowooze n’omwezi ogujja Beene yasiimye emirimu gya Bulungibwansi n’emmwanyi Terimba gigende mu maaso mu ngeri ya ssaayansi.” Kaawaase bwe yannyonnyodde.

Owek. Kaawaase yasabye abantu ba Ssaabasajja wonna okwekuuma ekirwadde kino era bakimanyi nti gyekiri mu bantu ate kitta.

Abaleese oluwalo yabakubirizza okwettanira pulojekiti za Buganda ez’okweggya mu bwavu nga Emmwanyi Terimba era bakimanye nti omulimu gw’okulaakulanya Buganda guli mu mikono gyabwe.

Ate ye minisita, omubeezi , owa gavumenti ez’ebitundu, Owek.Joseph Kawuki yeebaziza abaami ba Kabaka olw’okwewaayo okutuukiriza emirimu n’obuvunaanyizibwa obwabaweebwa Ssaabasajja Kabaka mu kiseeera kino eky’omuggalo.
Owek. Kawuki yenyamidde olw’abaami abamu abawummula obuweereza ate ne basalawo okukozesa ebifo byabwe okulwanyisa Obwakabaka bwa Buganda.

Wabula ono alaze obwennyamivu ku baami ba Kabaka abawummula obuweereza ate nebadda mu kulwanisa Obuganda.

“Bwojja mu bukulembeze buno obutali bwa nsikirano oba osuubira okubuvaamu essaawa yonna noolwekyo si kirungi kusiiga nziro bantu bewaali okozeeko nabo.” Kawuki bwe yalambuludde.

Omwami w’essaza lya Ggomba Kitunzi Ssebunnya Elenoer, yasabye Katikkiro okutunula mu nsonga z’ekibbattaka ekibutikidde ekitundu kyabwe ensangi zino wamu n’okusoomoozebwa kwe balina mu by’obulamu.

Mu bakiise embuga mu baddemu omumyuka Ssentebe wa kakiiko ka baami ab’amasaza Oweekitibwa David Natajja, Omwami Nsubuga Moses Muganda n’abalala.
Bano baaguze ssatifikeeti nebaweebwa n’ebipalaati ebibajjukiza okulwanyisa ekirwadde Kya Mukenenya.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.