Bya Ssemakula John
Kampala
Eggwanga lya Japan liwadde Uganda obuwumbi bwa ssiringi 14 eri Minisitule y’ebyobulamu ziyambeko okugula ambyulensi, ebitanda wamu n’ebikozesebwa ebirala kisobozese okwongera amaanyi mu lutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.

Obuyambi buno buweereddwayo Ambasada wa Japan mu Uganda, Kazuaki Kameda ku Lwokubiri era ng’abukwasizza Minisita w’ebyefuna Matia Kasaija ku lwa gavumenti ya Uganda.
Minisita Kasaija yategeezezza nti obuyambi buno bwe bugenda okwongera okuyamba okukendeeza ku kazito akabadde kateeredde ku gavumenti olw’ebyetaagisa mu kulwanyisa ekirwadde kya COVID-19.
“ Njagala okweyama gy’oli Oweekitibwa nti ssente zino tugenda kuzikozesa okutuukiriza ekigendererwa kyazo.” Kasaija bwe yagambye.
Kameda yasabye abantu bagoberera ebiragiro bya gavumenti ebitangira ekirwadde kino kubanga buli lukya kyongera okusensera ensi ez’enjawulo era nga buli lunaku kyongera okubeera eky’obulabe eri abo abatagoberedde biragiro bino.
“ Ekikulu kati eri bannansi kwe kulaba nga bateeka mu nkola ebiragiro ebiziyiza ekirwadde kino nga banaaba mu ngalo, bambala masiki, okwewa amabanga wano n’ebintu ebirala ebiyamba obutakwatibwa kirwadde kino.” Kameda bwe yannyonnyodde.
Ate ye Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’ebyobulamu, Diana Atwine, yasiimye gavumenti ya Japan olw’obuyambi buno era n’asuubiza ensimbi zino okukozesebwa obulungi zigase bannansi.








