Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga kagaanye okuwa Munnamateeka Nkunyingi Muwada ebiwandiiko bya Pulezidenti Yoweri Museveni eby’obuyigirize nga bwe yali asabye mu bbaluwa gye yabawandiikira nga 21 August 2020.

Akakiiko nga kayitira mu bbaluwa eyawandiikiddwa eri Muwada kategeezezza nti tewali bwetaavu bwakuddamu kukakasa buyigirize bwa Pulezidenti Museveni kwe yeesimbirawo mu kalulu ka 2016 kubanga etteeka erifuga okulondebwa kwa bapulezidenti erya (Presidential Elections Act 2005) lirambulukufu ku nsonga eno.
Mu bbaluwa eyateereddwako omukono gw’akola nga Ssaabawandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda mu kaseera kano Mulekwa Leonard, akakiiko kategeezezza nti eby’okusunsulwa kwa Museveni mu kadde kano aka 2016 byali birambikibwa etteeka ly’okulondebwa kwa Pulezidenti (Presidential Elections Act, 2005) ekitundu nnamba 4 (15).
“Okusobola okuggyawo okubuusabuusa, singa eyeesimbyewo abeera alina ebbaluwa ya S.6 nga yagifunira mu Uganda oba ng’alina obuyigirize obusukkawo ku bulagiddwa nga yabufunira mu Uganda oba Ssettendekero wa East Africa yenna. Mu mbeera eno tewajja kubaawo bwetaavu bwa kitongole ekivunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu (National Council for Higher Education) kukakasa biwandiiko bye,” ebbaluwa ya Mulekwa bw’ennyonnyola.
Muwada yali yawandiikira akakiiko k’ebyokulonda ng’ayagala akakiiko k’ebyokulonda bye kasinziirako okumusunsulamu mu kalulu ka 2016 kubanga ddembe lye erimuweebwa ssemateeka .
Ku nsonga y’okusunsulamu Museveni oba nga kwakolebwa mu mateeka, akakiiko k’ebyokulonda kategeezezza nti kino kyakakasibwa abalamuzi ba kkooti ensukkulumu mu musango gw’ebyokulonda Amama Mbabazi mwe yawaabira Museveni n’akakiiko k’ebyokulonda nga awakanya ebyava mu kulonda (PRESIDENTIAL ELECTION PETITION No. 01 of 2018 , Amama Mbabazi Vs Museveni, EC and Ors).
Mulekwa yagambye nti, abalamuzi bakizuula nti okunsunsulamu kwa Museveni kwakolebwa mu mateeka era nga tewali nsobi yonna yakolebwa.
Omwezi guno nga gutandika, Nkunyingi yategeeza nga bw’agenda okukola buli kisoboka mu mateeka aweebwe ebiwandiiko bya Museveni kubanga lino ddembe lye eriteereddwa mu tteeka erirung’amya ebitongole bya gavumenti ku kugaba amawulire (Access to Information Act).
Muwada yategeezezza nti Munnamateka Male Mabiriizi yasinziira mu tteeka lye limu okusaba ebiwandiiko by’omubaka Robert Kyagulanyi bye yeesimbirako e Kyaddondo East mu 2017, naye lyakozesezza okusaba ebya Museveni ebya 2016 nga tewali nsonga lwaki bakandalirira.








