Bya Francis Ndugwa
Kampala
Omuyimbi Jose Chameleone amanyiddwa nga Joseph Mayanja awandiikidde akakiiko k’ebyokulonda aka National Unity Platform nga yeemulugunya ku nsobi eyakoleddwa n’amaliriza nga taweereddwa kkaadi, ky’agamba nti tekyabadde kya bwenkanya.

Okusinziira ku bbaluwa Chameleone gye yawandiise nga 20/09/2020 yategeezezza nti, olunaku lwa 18/September we lwazibira nga ebiwandiiko biraga nti Chameleone taliiko muntu amwesimbyeko kubanga Alhaji Latif Ssebaggala yali avudde mu lwokaano era nga kino yakiteeka mu buwandiike.
Kino kiddiridde omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi okusaba abo bonna abataamatidde nabyasaliddwawo kakiiko kano okuwandiika mu butongole ensonga zaabwe zisobole okutunulwamu.
Omukwanaganya wa Chameleone ku nsonga z’amawulire, Andrew Mugonza yategeezezza nti wabaddewo ekkobaane okumma omuyimbi ono kkaadi era nga likulembeddwamu bannabyabufuzi mu Kampala era nga bano enkiiko babadde bazituulamu entakera.
“Latif yali yava mu kalulu ako era n’awandiikira akakiiko k’ebyokulonda nga avuddemu era bagenze okutuuka okufulumya olukalala nga Chameleone talina amuvuganya mu NUP ku bwa Loodimmeeya mu Kampala naye ate twewuunyizza nga bamukomezzaawo nga alina kkaadi, era twebuuza nti kino kijja kitya?” Mugonza bwe yabuuzizza.
Ono yategeezezza nti singa balemererwa okufuna obwenkanya Chameleone agenda kwesimbawo ku lulwe amaanyi g’abantu gasalewo kubanga bakimanyi nti ono obuwagizi abulina.
Abantu bangi bavuddeyo nebeemulugunya ku kintu ky’obutaweebwa kkaadi nga bagamba nti engaba yaazo yabaddemu vvulugu nga abamu baaguliridde ate ng’endala zaaweereddwa abantu abatalina buwagizi mu bantu.








