Bya Ssemakula John
Kampala
Ekizimbe kya Ssettendero wa Makerere University ekimanyiddwa nga ‘Ivory Tower (Main Building)’ kikutte omuliro mu kiro ekikeesezza olunaku lwa leero negusanyaawo ebintu ebitamanyiddwa muwendo.
“Ekizimbe ki ‘Main Building’ kikutte omuliro,” aba Ssettendekero wa Makerere University bwe baategeezezza ku Ssande ku makya nga bayitira ku kibanja kyabwe eky’omutimbagano ekya Twitter.
Bano bakakasizza nga poliisi y’abazinnyamooto bweyamaze edda okutuuka era bakola butaweera okutaaasa ekizimbe kino.
Ekizimbe kino mwemutuula Amyuka Cansala w’ettendekero nga mwemuterekebwa ebiwandiiko ebikwata ku bayizi ababeera bayise mu ttendekero lino awamu ne woofiisi enkulu ez’ebyensimbi.
Ekyavuddeko omuliro guno ogutandise ku ssaawa nga Musanvu kibadde tekinamanyika wabula nga abakugu ba poliisi batandise dda okunoonyereza awavudde obuzibu.
Omuliro guno gujjidde mu kaseera nga gavumenti ekola buli kimu okulaba nga abayizi ababadde ku muggalo okuva mu mwezi gwa March nga 30 baddayo beeyongere mu maaso n’emisomo gyabwe.
Kino kyekimu ku bizimbe ebitono ennyo ebimanyiddwa ennyo olw’ekitibwa kyabwe wamu n’enzimba yaabyo eyawukana ku birala mu ggwanga era nga kibadde kimu ku by’obulambuzi.
Ekizimbe kino kyamalirizibwa mu mwaka gwa 1941 era nga mu budde obwo omuzungu George C. Turner yeyali akulira ettendekero lino nga liyitibwa Makerere College.
Kino kikadde nnyo nga kyazimbibwa mu nzimba eri yenyini eya Bangereza era nga kyazimbibwa ku nsimbi ezava mu kitavu kya gavumenti y’abafuzi b’amatwale eky’okwekulaakulanya.
Ebisingawo ku ggulire lino, tubireeta mu bwangu.