Bya Gladys Nanyombi
Kampala
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama avumiridde obuvuyo n’okulwanagana ebyabadde mu kamyufu ka National Resistance Movement (NRM) n’asaba kino kibeere eky’okuyiga eri bannabyabufuzi bonna.
”Effujjo eryakolebwa mu kamyufu ka NRM lyalaga okuwoolera eggwanga okuva mu bantu ab’enjawulo, ettemu, okukubagana n’okukozesa emmundu ate ng’ebikolwa bino tebirina kifo mu nkola ya demokulaasiya,” Omulamuzi Byabakama bwe yategeezezza.
Okwogera bino Omulamuzi Byabakama yasinzidde ku kitebe ky’ akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala ku Lwokuna bweyabadde ayogerako eri bannamawulire ng’atangaaza ku birina okugobererwa abeesimbyewo mu kalulu ka bonna aka 2021.
Byabakama yagambye nti ebikolwa eby’okutemula abantu olw’obululu kubeera kutyoboola kitiibwa kyabo abayiwa omusaayi eggwanga lino lisobola okufuna enfuga ey’amateeka ne demokulaasiya.
“Tusaba muleme kutaataganya kaweefube eyakolebwa abantu abaakola ssemateeka kwe tutambulira wamu n’ekigendererwa ky’ abalwanirira eggwanga lino.
Mu by’obufuzi buli muntu abeera n’omwaganya okulonda omukulembeze gw’ayagala oluvannyuma lw’emyaka etaano nga tewali kuyiwa musaayi,” Byabakama bwe yalambuludde.
Ono yannyonnyodde nti, bagenda kusisinkana bannabyabufuzi, bannaddiini, abakulembeze b’ebitundu n’abebyokwerinda bateese ku ngeri ez’enjawulo ze basobola okuyitamu okutegeka okulonda okw’emirembe.
Byabakama yakiggumiza nga bwewatagenda kubaawo nkung’aana za kampeyini kiyambe okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona wabula abeesimbyewo balina kukozesa ttivvi, leediyo n’emikutu gya yintaneeti.
Yasabye abatalina leediyo n’ebitundu ebitalina ttivvi okweyambisa ebizindaalo okusobola okunoonya akalulu mu balonzi.
Ku nsonga y’engeri abagenda okwesimbawo gye bagenda okunoonya akululu mu mbeera eno eya ssennyiga corona, Byabakama ategezeeza nti nga akakiiko baasalawo nti abeesembyewo bajja kukozesa emikutu gy’empuliziganya nga Leediyo, terefayina, n’emitimbagano era mu bitundu ebitaliimu Leediyo oba nga ziri wala nnyo, bajja kukozeesa ebizindaalo by’oku byalo byabwe.
Ono asabye bannayuganda okuba abakkakkamu mu kiseera kino nga ebyobufuzi bibutikidde eggwanga.