Bya Gerald Mulindwa
Kampala
Gavumenti ya wakati eddizza Buganda emmotoka ey’ekika kya Rolls Royce Ssekabaka Muteesa mweyatambuliranga mu kiseera weyabeerera Pulezidenti wa Uganda.
Omukolo guno gubadde ku Kadiyizo lya Uganda Museum e Kamwokya mu Kampala leero ku Lwokuna, nga ekwasiddwa Omulangira David Wasajja nga omukolo gukoleddwa Minisita w’ebyobulambuzi Tom Butime yeyagimukwasizza.
“Tulina essanyu nti Pulezidenti yakkiriza okusaba kwa Ssaabasajja ne Kabineeti nayo nekkiriza ekirowoozo ekyo eky’okuzza emmotoka eno eri Obwakabaka,” Omulangira Wasajja bweyategeezezza.
Wasajja yanyonyodde nti, emmotoka eno yafuuka kya buwangwa mu Buganda kubanga abaganda abagirabako mu biseera ebyo bagirinako akakwate kammanyi.
Omulangira Wasajja yasuubiza nti, emmotoka eno egenda kusigala nga kyabulambuzi nga bwebadde ku Kadiyizo lya Uganda Museum era buli muntu agenda kuba asobola okujja nagirabako.
Minisita w’ebyobulambuzi Tom Butime yategeezezza nti, emmotoka eno yagulibwa mu mwaka gwa 1964 nga gavumenti ya Uganda ye yagigula okutambuliramu Pulezidenti wa Uganda eyasooka era nga okugireeta ku Uganda Museum bagiggya mu maka g’obwapulezidenti Entebbe.
“Emmotoka eno yaleetebwa wamu kuba mu ndabika yaayo yali ya muwendo era nga kyabulambuzi ekirina okukuumibwa naye kabineeti bweyatuula nga nange mwendi twakkiriziganya okugiwa Obwakabaka bwa Buganda nga Kabaka bweyali asabye,” Minisita Butime bweyanyonyodde
Minisita Butime yasabye Obwakabaka okugikuuma era bakkirize n’abantu abalala okuva ewalala okugirabako kubanga ya byafaayo.
Ate yye Katikkiro Mayiga bweyabadde ayogerera ku mukolo guno, yasiimye Pulezidenti ne Kabineeti ye olw’okuteesa okuzza emmotoka eno, nga Ssaabasajja bweyasaba.
Katikkiro Mayiga yanyonyodde nti, mu kaseera Obwakabaka webwagyirwawo waliwo Rolls Royce nnya naye nga esatu tebamanyi gyeziri awamu n’emmotoka Bentley gyagamba nti mukiseera kino eri mu ggwanga lya South Africa.
“Tetusobola buteebaza kikolwa kino newankubadde waliwo ebirala byetukyanoonya kubanga era bwoba ozzaawo ennyumba nga yagudde ettofaali ozzaawo liri ku limu,” Mayiga bweyalambuludde.
Ono yasuubiza nti, Buganda egenda kuddaabiriza emmotoka eno esobola okugyayo ekitibwa kyayo.
Yye Minisita omubeezi ow’ebyobulamuzi Godfrey Kiwanda yasabye Obwakabaka emmotoka eno esigale nga erambulwa abantu era bamanye ebyafaayo byayo.