Bya Gladys Nanyombi
Lubaga
Akalulu katuuse wekanyumira, abeesimbyewo mu lwokaano lw’omubaka wa Lubaga South mu Palamenti abawera bana, basazeewo okuwagira munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) Samuel Walter Lubega Mukaaku ku kifo kino.

Bano okuli; Joel Yiga, Masembe Moses, Ssemusu Mugobansonga ne Denis Kiyingi bategeezezza olupapula luno olwa Gambuuze nti, beetunuddemu nebalaba nga Mukaaku abasinza obuwagizi era ajja kusobola okutuusayo ensonga zabwe.
“Bwetwabadde mu nteseganya, nze nabadde omukubiriza w’enkiiko zonna era mubwerufu twagenze mu maaso n’okuba akalulu era kawanguddwa Lubega Mukaaku,”Omu ku babadde bavuganya ku kifo kino Denis Kiyingi bweyategeezezza.
Wabula bino Aloysious Mukasa ali ku mbiranye ne Mukaaku yabiwakkanyiza nagamba nti, olukiiko olw’engeri eno terunabaawo bano bali mu katemba wabwe, yye akalulu akyakalimu.
Ate yye Masembe Moses yagambye nti, Mukaaku bamuwadde omukisa nga bbo abavubuka era namulabula nti singa ava ku bigendererwa bya NUP bakukola kyonna ekisoboka okudda bamwesimbeko.
Mukaaku yeebazizza banne era nalaga nti, mwetegefu okukyusa ekitundu kya Lubaga South wamu nokwongera okutunda ekibiina ki NUP mu bantu.
“Ndi mwetegeefu okwanganga ekifo ekimpereddwa era singa mba nkwasiddwa Kaadi ya NUP, nkakasa nti benvuganya nabo mu bibiina ebirala njakubawangula,” Mukaaku bweyanyonyodde.
Mukaaku yakkiriza nti, ekibiina tekinavaayo mubutongole kulaga gwebagenda kuwa kkaadi naye ye n’abamuvuganya basazeewo bawewule ku mulimu gw’ ekibiina mukukkiriziganya.
Mukaaku yakakasizza nti, ku lw’ekibiina nebwabeera tawereddwa kkaadi mwetegefu okuwagira oyo anabeera ayiseemu mu mazima n’obwenkanya era ajja kumunoonyeza akalulu.
Abawagizi b’ekibiina ki NUP mu Lubaga basiimye ekikolwa ekyakoleddwa Kiyingi ne banne nebategeeza nti kiraga obuzira n’okwagaliza abalala.









