Bya Ssemakula John
Mubende
Minisita omubeezi owa gavumenti z’ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki, atabukidde bannakigwanyizi mu Ssaza lye Buweekula abatandise okuwubya abantu nti essaza lino ligenda kuzzibwayo eri Obukama bwa Bunyoro.
“Nkubiriza abantu ba Kabaka obutakkiriza bano abababuzaabuza, ababamalako emirembe, Buweekula Ssaza lya Buganda okufaanana Amasaza amalala gonna ekkumi n’omusanvu era oli ayogera ekyo abeera yerimba. Agezaako okubuzaabuza abantu okubaggya ku mulamwa gw’ okwerwanako n’okuzza Buganda ku ntikko,” Minisita Kawuki bweyateegezezza.
Okwogera bino Minisita Kawuki abadde mu disitulikiti ye Mubende nga abakulira disitulikiti eno baddizza Obwakabaka ebintu byaayo disitulikiti byebadde ekozesa omuli; entebe 12, ebitabo bye byafaayo ebikwata ku Buganda, Kabadda omuterekebwa empapula awamu n’ebirala.
Minisita Kawuki yakubirizza Bannabuweekula abalina ebibanja ku ttaka ly’Obwakabaka okusigala nga bawa obusuulu kubanga eno y’engeri yokka gyebasobola okubeera n’obwanannyini ku bibanja bino mu mateeka bave ku bababuzaabuza.
Yabasabye okukolera awamu n’Obwakabaka era bettanire Puloojeekiti ez’enjawulo kibayambe okweggya mu bwavu wamu n’okutwala Buganda mu maaso.
Kino kiddiridde omumyuka wa Ssentebe wa disitulikiti ye Mubende Magezi Sheif Nsereko, okutegeeza Minisita Kawuki nga emitima bwegibadde gibeewanise olw’ebigambo byagamba nti bigenderere nga bibadde bisaasaanyizibwa ku mikutu gy’amawulire mu kitundu kino.
“Tuzze tulina ebintu ebitwewanisa emitima nga bannaffe ab’e Bunyoro abazze basiga ensigo mu bantu nti essaza lya Buweekula ligenda kudda e Bunyoro, ekintu kino abantu kibadde kibakuba wala,” Magezi bweyategeezezza.
Magezi yanyonyodde nti, bangi ku batuuze mukitundu kino okuli abakiga tebaagala kuwuliza kintu kino olw’ebyo ebyatuukawo wakati wabwe n’Obukama bwa Bunyoro mu myaka egiyise naye ebigambo bya Minisita Kawuki bibazizzaamu essuubi.
Ate yye Omwami wa Kabaka Luwekula Nantaayi Kafeero yategeezezza nti, abadde asanga obuzibu okuyingiza abantu mukitundu kino mu nteekateeka z’Obwakabaka nga bangi ku bano babadde bajuliza nti ligenda kuddayo e Bunyoro.
“Buli ggombolola gyembadde ntuukamu nga bagamba toyogera kubanga Bunyoro egenda kuddayo e Bunyoro n’omusango gwabasinga. Naye kino kisanyusizza,” Nantaayi bweyanyonyodde.
Ono yasabye Bannabuweekula okusigala obumu era bakolere okuzza Buganda ku ntikko kubanga bategedde ekifa embuga.
Oluvanyuma akulira abakozi ku disitulikiti ye Mubende Nakamatte Lillian yayanjulidde Owek. Kawuki ebintu ebiddiziddwa Obwakabaka era neyeebaza olw’enkolagana ennungi wakati wa Bugande n’obukulembeze bwe Mubende.