Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira abalamuzi abawozesa emisango eminene ku kkooti enkulu, Wilson Kwesiga alabudde abanoonyereza ku misango gino bakomye okukakka abakwatiddwa okugikkiriza kubanga kino tekikkirizibwa mu mateeka.
Bino Omulamuzi Kwesiga yabyogeredde mu kuggulawo ogw’okubangula abapoliisi abanoonyereza ku misango gy’obutemu ku Lwokubiri wano mu Kampala ogugenda okumala wiiki bbiri nnamba.
“Mulina okubeera abegendereza nga mukwasaganya ensonga y’okuggya obujulizi ku bakwate mu misango gy’obutemu. Tufune okwemulugunya nti mutulugunya abantu nga mwagala bakkirize okuzza emisango gino ekintu ekimenya amateeka. Obujulizi obufuniddwa mu ngeri eno tebukkirizibwa era singa omuwawaabirwa ategeezza kkooti nti yakakkiddwa okubuwa, obujulizi buno tetusobola kukkirizibwa,” Omulamuzi Kwesiga bweyagambye.
Kwesiga yanyonyodde nti, ababeera bakwatiddwa balina okwewaako obujulizi nga beeyagalidde nasaba abanoonyereza obutatunuulira kya bakwatiddwa kukkiriza misango wabula banoonye amakubo amala gebasobola okufunamu obujulizi kiyambe okuteekawo obwenkanya.
Yabasabye bulijjo okukola omulimu gwabwe mu bukugu era n’obwegendereza kubanga byebawa kkooti bisalawo kinene ku ntambula y’omusango.
“Omupoliisi anoonyereza ku musango alina okubeera nga asoma ku misango emirala egifanagana gwaliko kimuyambe okwongera okumanya. Ekigendererwa kyo nga anoonyereza tekirina kuba kusingisa mukwate musango wabula kuteekawo bwenkanya, eri omukwate, nanyini musango ne famire z’enjuyi zombie,” Omulamuzi Kwesiga bweyategeezezza.
Ate yye akulira abawaabi ba gavumenti, Omulamuzi Jane Frances Abodo yasabye abanoonyereza bulijjo okunoonyereza obulungi emisango kiyambe okuteekawo obwenkanya.
“Omusango tegulina kumala myaka 10 nga tegunaggwa. Temuwa ba famire ssuubi litaliiwo nga mubategeeza nga bwemukyanoonyereza ate nga mukimanyi nti okunoonyereza kwaggwa ne fayiro neziggalwa, “Abodo bweyabasabye.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Poliisi, AIGP Grace Akullo yagambye nti okutendekebwa kugenda kuyamba abapoliisi abanoonyereza ku misango okwongera okufuna obukugu bamalirize emisango mu budde.