Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina ki NRM kitaddewo akakiiko okutunula mu kwemulugunya kwa beesimbyewo abeemulugunya ku buwanguzi bwabwe okubbibwa mu kamyufu akeetabikamu obukubagano, okubba obululu wamu n’okulya enguzi.
Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire ku lunaku lwa Ssande, amyuka Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NRM Richard Todwong yategeezezza nti, ttiimu yabwe eya bannamateeka esuubirwa okutandika okuwulira okwegulunya n’okutunula mu nsonga zino enkya ku Lwokubiri wali ku kitebe ky’ekibiina.
Todwong yategeezezza nti, ebinaava mu kunoonyereza kuno byebigenda okulambika ekibiina ku kirina okukolebwa eri abo abeetaba obutereevu mu bikolwa by’okubba obululu n’okutabangula emirembe kubanga NRM kibiina kya mirembe.
Kinajjukirwa nti, mubitundu ebimu bannakibiina bakubwa, abamu bafuna ebisago nga enjuyi ez’enjawulo ziyombagana ate nga waliwo nabafuna ebisago n’okukubwa amasasi ab’ ebyokwerinda ku lunaku lw’okukuba akalulu n’okukabala.
Amyuka Ssaabawandiisi Todwong yakakasizza nga bwewalina okubaawo ekikolebwa eri abo abanasangibwa nga gubasinga kisobole okuyigiriza abalala nti ebikolwa nga bino tebirina kifo mu by’obufuzi by’ekibiina.
“Tetuyinza kufuuka kibiina kiwagira bubbi n’obutabanguko wamu naabo ababwetabamu, tugenda kuggyamu abantu ab’ekikula kino mu kibiina,”Todwong bweyagambye.
“ Nsaba ab’ebyokwerinda wamu n’essiga eddamuzi okukakasa nti, abo abeetaba mu bikolwa bino bavunaanibwa emisango gyebakola era bagaanibwe okuddamu okwetaba mukulonda mu biseera eby’omu maaso kubanga ebikolwa byabwe bivumaganya ekibiina,”Todwong bweyalambuludde.