Bya Ssemakula John
Kampala
Eyeegwanyiza okufuuka omukulembeze bw’eggwanga era munnamaggye eyawummula Gen. Henry Tumukunde, avumiridde obuvuyo n’obukubagano ebyabadde mu akamyufu k’ekibiina ki National Resistance Movementi ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.
Mu kiwandiiko kyafulumizza leero nga 9 /September, Tumukunde ategeezezza nga okulonda mu Uganda bwekutakyalina makulu okuggyako okukozesebwa okulaga abalina ssente n’amaanyi okutwala ekifo kyonna kyebabeera baagala.
“Kino kyalaze nti ebintu gyebiraga siwalungi era bwewataba kikolebwa mubwangu, ebyokulonda mu ggwanga tebigenda kubeeramu makulu era abantu tebagenda kubikiririzaamu,” Tumukunde bweyagambye mu kiwandiiko.
Tumukunde yagasseeko nga okulonda bwekulina okuwa abalonzi omukisa okusalawo mu nkola ya demokulaasiya ku gwebagala era nga gwe mukisa gwokka gwebalina okuteeka abakulembeze babwe ku nninga .
“Abakulembeze bwebaba tebakoze bya basuubirwamu, buli kulonda lwekutuuka abalonzi baweebwa omukisa obutabalonda wakati mu bwenkanya naye ssi bwekyabadde ” Tumukunde bweyanyonyodde.
Gen. Tumukunde yanyonyodde nti bwebali balwana okuleeta gavumenti ya NRM mu buyinza tebakirowooza nti ebintu bisobola okwonooneka okutuuka ku ssa lino, kubanga ekyabatwala mu nsiko kwali kulaba nga demokulaasiya n’enfuga ey’ amateeka eteekebwamu ekitibwa nokuteekawo ensi ewa buli omu obwenkanya.
Wano weyasinzidde nakunga bannayuganda okukomya ebikolwa nga bino nga bagaana okulonda gavumenti ya Museveni mukulonda kwa 2021 kubanga ebintu mwebafiira kati tebirina makulu.
Tumukunde yalaze nga ekisinde kye ki ‘Renewed Uganda (RU)’ bwebakola buli kimu okulaga bannayuganda ekituufu era nabasaba obutava ku mulamwa kubanga akaseera konna enkyukyuka gyebayayanira bagenda kugifuna.
Gen. Tumukunde yategeezezza nti kati ebintu webituuse bannansi basobeddwa kubanga balina okulondawo ku kibiina ki NRM ekigudde entalo n’okulwanagana oba okulonda ekibiina ekirala ekinabayamba okuteekawo Uganda eyeyagaza buli muntu.
Kino kiddiride obuvuyo, efujjo, okulwanagana, okubba obululu n’okuttingana okwalabikidde mu kamyufu k’ekibiina ki NRM bwebabadde banoonya abanakwatira ekibiina bbendera mu bitundu ebyenjawulo basobole okukiika mu Palamenti mu kalulu ka bonna aka 2021.