Bya Ssemakula John
Ntungamo
Minisita omubeezi ow’abakozi Mwesigwa Rukutana olwaleero azziddwayo mu kkomera okumala wiiki nnamba kisobozese okunoonyereza ku musango gw’okugezaako okutta bwebabadde mu Kamyufu k’ekibiina ki NRM okumalirizibwa obulungi.
Kino kiddiridde okukwatibwa kwa Rukutana oluvanyuma lw’okujja ku mukuumi we emmundu nayagala okukuba amasasi e Rushenyi mu distulikiti ye Ntungamo bwebali beesimbyewo mu Kamyufu k’ekibiina.
Rukutana bwaleteddwa mu kkooti, bannamateeka be nga bakulembeddwa Owen Mulangira nebasaba kkooti emukkirize yeyimirirwe.
Bannamateeka bano bategeezezza kkooti nga Rukutuna bwalina amaka agamanyiddwa era n’omusango ogumuvunaanibwa gukkirizibwa okweyimirirwa.
Mulangira alaze abantu ababadde beetegese okweyimirira Rukutana okuli; eyali Minisita Jim Muhwezi, Omubaka wa Igara East Micheal Mawanda n’omusuubuzi Bob Kabonero okumweyimirira.
Oludda oluwaabi lutegeezezza nga bwelukyetaaga wiiki 2 okunoonyereza era nga lutya nti singa Rukutana ayimbulwa ajja kutaataaganya okunoonyereza kwebaliko.
Kino Munnamateeka Mulangira akiwakanyizza nategeeza nti tewali bukakafu bulaga nti Rukutana ajja kutaataaganya obujjulizi.
Mulangira yagambye nti, “Omuwawaabirwa talina kuggyibwako ddembe lye okweyimirirwa awatali nsonga kubanga waliwo abaagala okumubonereza kino kijjawo omulamwa gw’okubeera nga ono ateeberezebwa.
Wabula Omulamuzi yategeezezza nga bwataddewo olwa 15/09/2020 okuwulira okusaba kwa Rukutana wadde tekitegerekese oba ono aziddwayo mu kkomera e Kakiika oba anaatwalibwa Kitalya.
Kinajjukirwa nti ono avunaanibwa emisango okuli; okugezaako okutta omuntu, okutuusa ebisago ku muntu wamu n’okwonoona ebintu mu butongole.