Bya Ssemakula John
Kampala
Omubaka wa Nakaseke South mu Palamenti, Luttamaguzi Ssemakula ayimbuddwa okuva mukomera gyabadde yasindikibwa ku alimanda oluvanyuma lw’okwegaana emisango gy’okujeemera ebiragiro bya COVID-19.

Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako e Nakaseke yakkiriza Luttamaguzi okweyimirirwa ku kakulu ka kkooti ka mitwalo 20 ez’obuliwo.
Omubaka Luttamaguzi wamu n’abalala 11 bavunaanibwa nabo bakwatibwa wiiki ewedde nebasindikibwa ku alimanda mu kkomera lya gavumenti elya Wakityo olwokujeemera ebiragiro bya gavumenti ebirwanyisa COVID-19.
Bano era basoomerwa n’omusango gw’okukola ebikolwa ebisobola okuvaako okusaasaana kw’ekirwadde kino.
Bano Sabiiti ewedde Omulamuzi Milly Nankya yabasindika ku alimanda bamaleyo ennaku mukaaga oluvanyuma lw’okwegaana emisango gino.
Kinajjukirwa nti Luttamaguzi abadde yeemulugunya ku poliisi n’abeby’okwerinda nti basosola nebasalawo okunyigiriza ab’oludda oluvuganya kyokka nga abakulu mu NRM ne gavumenti bagenda mu maaso n’okukuba enkungaana zino nga tewali abakomako.








