Bya Ssemakula John
Kampala
Abadde Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) mu Kampala Godfrey Nyakana, agamba nti enkwe n’emivuyo egiri mu NRM gimugobye mukulonda era tagenda kuddamu kwesimbawo.
Nyakana nga abadde yeegwanyizza kifo kya Loodimeeya wa Kampala, bino yabitegeezezza omusasi wa Gambuuze ku Lwokusatu mu mboozi eyakafubo.
Nyakana yagambye nti, “Nakalulu akaggwa aka CEC mwalimu katemba mungi nnyo, nali mpangula okuva ssaawa nga 4 ez’okumakya mpaka 11, bwezatuuka 3 ez’ekiro nebikyuka. Ensonga eri emu nti sigenda kwesimbawo mu kalulu akajja era ndowooza mpereza ekimala okuva mu 1998.”
Ono alumiriza abakulu abatuula ku kakiiko k’ebyokulonda mu NRM akakulirwa Dr. Tanga Odoi okukulembeza ssente mu buli kyebakola nga tebakyagoberera mateeka ate nga tewali ayinza kubagambako.
Wabula ono yakiggumiza nga bwasigadde mu kibiina ki NRM era nga wakukinoonyeza obululu nga omuntu wa bulijjo kiwe abalala omukisa okuwereza.
Kinajjukirwa nti Nyakana abadde yakamala okuwangulwa Singh Katongole ku kukikirira Kampala ku lukiiko lwa CEC, akalulu kagamba nti kaalimu ebirumira.
Nyakana yalabudde nga eryanyi ly’emmundu erisusse mu NRM bwerigenda okusanyaawo ekibiina singa abakulu mukyo tebabaako kyebakolawo mu bwangu.
Wabula omwogezi wa NRM Rogers Mulindwa yaggumiza abawagizi b’ekibiina mu Kampala nga ekya Nyakana okunyuka eby’obufuzi bwekitalina ddibu lye kigenda kuteekawo mukibiina.
Mulindwa yanyonyodde nti, “Nyakana aleme kwekwasa kubanga akamyufu tugenda kukalonda ku Lwakutaano kati y’ emivuyo agirabye atya, ekyo aleme kyekwasa. Wewuunye ne CEC bamuwangula ate nga yeyali mukifo kino. ”
Ensonga za Nyakana ziwagiddwa Capt. Francis Babu nga ono yasoose nakusekamu nategeeza nga egimu ku mivuyo egibadde mu Kampala Nyakana bwagibaddemu.
Babu yagambye nti abakola emivuyo bakozesa ssente, okutiisatiisa n‘okubba wabula nga abantu bano batono naye nga ebigendererwa byabwe bya kusuubulira mukibiina ekigenda okukinafuya.
Ekya Nyakana okuva mu by’obufuzi kitadde ekibiina ki NRM naddala mu Kampala mu kattu wakati nga akamyufu kabulako ssaawa busaawa, olwokaano lwa Loodimeeya lusigaddemu John Ssebaana n’Omuyimbi Moses Kazibwe amanyiddwa nga Ragga Dee