Bya Gladys Nanyombi
Gomba
Entiisa ebuutikidde abatuuze b’okukyalo Mamba mu Gomba munnabwe ayagenze okuvuba bwagudde mu nnyanja nafiiramu mukiro ekikeesezza olwa leero.
Eyafudde ategerekese nga John Nsibambi nga wa myaka 65 era nga abadde aludde nga avubira ku nnyanja eno.
Banne bwebakola omulimu gwegumu bagamba nti basoose kulaba lyato lye nga liseyeyeza ku nnyanja nebafuna okutya era nebatandikirawo omuyiggo gw’okumunoonya.
“Tusaba buyambi omusajja yagudde mu bisamba kyokka tuli wano poliisi tesobodde kutuyamba. Abagenze okumunoonya tebalina webayinza kuyita buli wamu ebisamba byazibyewo,” omu ku batuuze Costa Nankabala bweyategeezezza.
Ate yye maama w’omugenzi Namulema Christine yalaajanidde gavumenti ebeeko engeri gyemuyamba okusobola okuggyayo omwana we kuba bbo nga abantu tebasobola kuyita ku kisamba.
Abavubi bano bategeezezza nga amaanyi bwegabaweddemu oluvanyuma lw’okuzuula engatto ze (Nigiina) nga ziseseyeza ku ngulu wabula ate kaweefube wabwe nalemesebwa ekisamba n’omuyaga ogubadde omungi.
Wabula bano bakukkulumidde poliisi olw’okulwangawo okutuuka nga bagiyise kubanga ono ssi ye muntu asoose okuggwa mu nnyanja naye obuyambi bwa poliisi nebulwawo okutuuka.
Ab’enganda bawanjagidde ab’obuyinza okuvaayo babataase okulaba nga bazuula omulambo gwa munnaabwe gwebakakasa nti yamaze dda okufa.
Ono yye muntu ow’okusatu okugwa mu nnyanja mu kitundu kino okuva omwaka guno lwe gwatandika.
Wabula abamu ku bakulembeze mu kitundu kino basabye bannabwe okugula ‘Life Jackets’ kibayambeko bwewabaawo obuzibu nga bali ku nnyanja.