Bya Nanyombi Gladys
Mawogola
Embiranye wakati w’abeesimbyewo mu ssaza lye Mawogola yeyongedde era nga abamu ku beesimbyewo awamu n’abawagizi batandise okweteekako embale ekiwalirizza poliisi okulabula abeesimbyewo wamu n’abawagizi mukitundu kino.

Kino kiddiridde Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Ssembabule Hanifa Kawooya okuvaayo nalumirizza munne Joseph Ssekabiito okumugulira abavubuka nebamukuba emiggo egyamutaddeko ebisago era nga agamba nti n’omukono gwe bagumenye.
Wabula bino Ssekabiito abiyise byabufuzi bya kito ebigenderereddwamu okumwonoonera erinnya nategeeza nti tekisoboka kubanga omubaka Kawooya alina n’abakuumi batambula nabo.
Bano bombi balwanira kukikirira ekitundu kya Mawogola West nga kino kyasaliddwa ku Mawogola County.

Entalo z’okukwata bbendera y’akamyufu ka NRM era ziranze ppaka mukitundu kya Mawogola North era nga nayo munnabyabufuzi Kayiwa Leo addukidde ku poliisi nga ayagala ekwate Aine Kaguta Sodo olw’okugula abavubuka nebamuligita emiggo ku kyalo Serinnya e Kasongi mu ggombolola ye Kawanda era mu Ssembabule.
Akulira poliisi mu Ttundutundu lye Masaka ACP Mbaine Enock yakakasizza okukubwa kwa Kayiwa era nategeeza nga bwebakutte abavubuka 3 babayambeko mukunoonyereza.
Poliisi erabudde bonna abeesimbyewo okukoma ku bawagizi babwe abatandise okukola efujjo kubanga tebalina gwebagenda kuttira ku liiso.
Bino biwalirizza Omumyuka wa Ssentebe w’ekibiina ki NRM mu Ggwanga Hajji Moses Kigongo wamu ne ssentebe w’ekibiina e Ssembabule Minisita Sam Kuteesa okugenda akapaalo nebakuba olukungaana mukitundu kino okutawulula enkayana zino.
Abamu ku batuuze basinzidde mu lukiiko nebalumiriza nga ammanya gabwe bwegasanguddwa mu nkalala z’abalonzi ate nga n’abamu ku b’ebyokwerinda baliko oludda lwebawagira ekintu ekitadde ekitundu ku bunkenke.
Kigongo yategeezezza abatuuze okusigala nga bagumu nakakasa nti ebinava wabweru wa Ssembabule tebagenda kubikkiriza ate n’abatuuze abamanyiddwa ku byalo ebyenjawulo bajja kulonda singa banasanga nga ammanya gabwe gasimuddwa ku nkalala.
Omu ku bavuganya Mawogola North Salim Kisekka yalaze okutya olw’abantu abamutiisatiisa okumutta nasaba Pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga zino nga omusaayi tegunayiika.
Gwebalumiriza okugula abavubuka okulumba banne, Aine Sodo Kaguta yabuulidde Ssentebe Kigongo nga bwatali mu lutalo nti nebavuganya nabo amanyi okubakubira ku ssimu neboogera.
Ate yye Shartsti Musherure nga naye yeesimbyewo yasabye banne okukomya okulwanagana nabasaba baleke banna Mawogola basalewo gwebagala okubakiiikirira awatali kubawulayawula.
Banna Mawogola naddala abava mukibiina ki NRM basuubirwa okulonda abantu abanakwatira ekibiina bbendera ku mitendera egy’enjawulo ku lunaku Lw’okutaano olwa wiiki eno.









