Bya Ssemakula John
Kampala

Abakulira ekitongole ki UNRA bakakasizza nga bwebaggadde ettabi lye Jinja oluvanyuma lw’okuzuula abakozi babwe abalala babiri nga balina ekirwadde ki COVID-19.
Kati omuwendo gwabalina COVID-19 mu UNRA baweze 8 era nga okusinziira ku UNRA bano bavudde mu bantu 107 abakebeddwa ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa aba UNRA kitegeezezza nti, “ Wofiisi zaffe tuzigaddewo okumala akaseera okuva nga 31 August okutuuka 03 September 2020 kisobozesa okunoonya abo abaliko n’abalwadde wamu n’okufuuyira ekifo kyonna.”
UNRA egamba nti egenda kukebera abakozi baayo bonna mukugezaako okulaba nga batangira ekirwadde kino wamu n’okulaba nga bayamba abazuuliddwamu ekirwadde kino okufuna obujjanjabi mu budde.
Oluvanyuma lw’okuzuula abalwadde, aba Minisitule y’ebyobulamu wamu ne UNRA bakolaganira wamu okulaba nga bayamba ku bakozi abasangiddwa n’ekirwadde kino okusobola okukiwona wamu n’okukitangira okusaasaana.
Ekiwandiiko kyasabye bakasitoma ba UNRA wamu n’abantu bonna okwongera okuteeka mu nkola ebiragiro ebitangira COVID-19 nga Minisitule y’ebyobulamu bweyalambika okuli; okunaaba engalo, okwambala masiki, obutasemberagana wamu n’okwekwata mu ngalo.








