Bya Gladys Nanyombi
Bulange
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atabukidde kkampuni n’abantu abaweebwa omulimu gw’okukola obukookolo (Masiki) olw’okwolesa omululu nebakola obutatuukana mutindo ekintu ekitadde obulamu bwa bannayuganda mu matigga.
Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde atongozza olukiiko oluggya olugenda okukulembera okulondesa abakulembeze mu bibiina bya bavubuka mu Buganda ku Lwokutaano mu Bulange e Mmengo.
Olukiiko luno olutongozeddwa lwakukulirwa Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu, amyukibwe Oweek. Rose Nantumbwe, Oweek. Kiyemba Hassan nga ono ye muwandiisi, oweek. Kazibwe Israeli, oweek. Victoria Bukirwa n’omwami Emmanuel Matovu.
Katikkiro Mayiga yategezeeza nti,emyaka egy’obuvubuka gyegisinga okuba egy’enkizo mu bulamu bw’omuntu era gyegisalawo ki kyanabeera nga akuze era nasaba abakulembeze okutegeera obuvunanyizibwa obubawereddwa okusobola okulungamya abavubuka mu Buganda
Kamalabyonna yagambye nti, “Abakulembeera abavubuka balina okuba abasajja n’abakazi abalimu ensa, nga beesigika nga babuvunanyizibwa kubanga ebintu ebyo by’ebibumba omuvubuka okutuuka ku ddala elyegombeesa”
Ow’omumbuga yabasabye okubeera abeesimbu basobole okuvumbulira Ssaabasajja abavubuka abalina akiruubirirwa ky’okuzza Buganda ku ntikko.
“Omuntu agenda mu bukulembeeza nga asuubira okulyayo ebifi by’enyama oyo taba nakirubirirwa kya kuzza Buganda ku ntikko kubanga ajja kubanga akulembeza bibye so ssi eby’abo bakulembeera era abantu bwebatyo tebayinza kukulembeera bannabwe babeera banonya byabwe ate Buganda tebetaaga,” Mayiga bweyagasseeko.
Minisita avunaanyizibwa ku bavubuka, emizannyo n’okwewummuza Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, bwabadde ayanjula olukiiko luno yasiimye olukiiko olukadde olwo’buweereza obulungi bwe balaze ate nategeeza nga olukiiko luno bwelugenda okusigala nga birondoola ebibiina bino nga okulonda kuwedde.
Ate yye Ssentebe w’olukiiko omuggya Oweek. Joseph Ssenkusu Balikudembe yalaze nga bwewabaddewo okusomoozebwa mukulondoola abalondebwa naye nasuubiza ku murundi guno okwongeramu amaanyi kisobole okusitula Obwakabaka okubutwala ku ntikko.
Bano baweze okukola ennyo basobole okuggusa olubimbi olubawereddwa.