Bya Musasi Waffe
Mbale
Embeera ebadde ya bunkenke ku Lwokusatu ku kkooti e Mbale ng’Omulamuzi,addamu okuwulira omusango Omubaka Robert Kyagulanyi gweyawaabira abakulu mu poliisi olw’okumulemesa okukyala ku leediyo ya BCU ku ntandika y’omwezi guno.
Abangi ba Kyagulanyi baakedde mu bungi okweyiwa ku kkooti era olwamulabye nebagala okuyingira naye munda mu kkooti ekintu poliisi kyeyagaanye nga egamba nti kivvoola ebiragiro bya COVID-19.
Kino abawagizi ba Kyagulanyi bakigaanye ekyawalirizza poliisi okubakubamu omukka ogubalagala wamu n’okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.
Omu ku bawagizi yagambye nti, “Eno kkooti kifo kyalukale, tewali nsonga lwaki batugobaganya, kuno kuwamba kkooti kwenyini, tetugenda kukkiriza Pulezidenti waffe kuyingirayo yekka.”
Oluvanyma Kyagulanyi ne bannamateeka be bayingidde munda mu kkooti era okuwulira omusango nekutandika wakati mu kubwatuka n’okwesooza kw’amasasi wabweru wa kkooti.
Abawawaabirwa okuli; RDC w’e Mbale, DPC, OC ne DISO bonna babaddewo mu kkooti ate nga Ssaabaduumizi wa poliisi, Martin Okoth Ochola yakikkiriddwa bannamateeka be era omusango negugenda mu maaso.
Wabula omulamuzi Andre Katumbuki yategeezezza nti, “Olwokuba wabaddewo okulemwa okuziyiza abantu okubeera abangi, omusango guno gwongeddeyo okutuusa nga embeera eteredde.”
Kino bannamateeka ba Kyagulanyi bakiwakanyizza nga bagamba nti tekyabadde kya bwenkanya eri omuntu wabwe.
Munnamateeka wa Kyagulanyi Medard Ssegona yategeezezza, nti tebamatidde nansalawo ya mulamuzi kubanga tewali amanyi ddi COVID-19 lwanaggwawo omusango guddemu okuwulirwa.
Ssegona yagambye nti bakutuula n’omuntu wabwe balabe ekiddako.
Kyagulanyi yagambye nti, “ Kkooti eri mu buwambe, tulina okulowooza nti omulamuzi naye bamuwadde ebiragiro kubanga agaanye okuwulira omusango gwaffe era kino tetukirabangako.”
Kinajjukirwa nti ku ntandikwa y’omwezi guno abapoliisi balemesa Omubaka Robert Kyagulanyi okugenda ku leediyo ya BCU gyeyali ayitiddwa okukubaganya ebirowoozo.