Bya Gerald Mulindwa
Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga abikidde Obuganda okufa kw’ Omubiito Sebastian Kitayimbwa Mumiransanafu eyafudde ku lunaku lwa Mmande.
Katikkiro yagambye nti, “Kitayimbwa abadde Mubiito era nga yali mwami wa Kabaka era mu busambatuko bwa 1966 yasangibwa ye Muteesa atwala essaza lye Mawogola. Kitayimbwa yakola kyonna ekisoboka okumukweka namutaasa abasajja ba Obote.”
Mayiga yanyonyodde nti Eyo mu kisaka gyeyamukwekanga, omukadde Nabakooza gyeyaweranga Ssaabasajja emmere . Ono nga ayambibwako banne abalala okwali n’ Omuwanika w’essaza Kasule okulaba engeri Ssebabaka Muteesa bwafuluma Buganda ne Uganda.
Katikkiro yategeezezza nti Mumiransanafu yali muzira kubanga yawaayo obulamu bwe ate nga mukiseera kye kimu yakuuma obwesigwa Ssekabaka Muteesa bweyali amutaddemu natabuulira balabe wa gyeyali yekwese.
Ono yagasseeko nga Kitayimbwa bwabadde amaze akaseera nga mukosefu. Yagambye nti Buganda yamusiimye olw’okufaayo n’okukuuma Nnamulondo mukaseera akazibu.
Mayiga yalambuludde nga Kitayimbwa bwabadde avva mu balangira b’e Kkooko mu Kamuswaga Ndawula.
Katikkiro yasaasidde ababiito be Kooki n’Obwakabaka olw’okufiirwa omuntu omunene eyakola ennyo okulaakulanya essaza lye Mawogola wamu ne Uganda.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Kitayimbwa agenda kuziikibwa ku Lwokuna era nga Obwakabaka bwatandise dda ku nteekateeka eno nga Oweek. Noah Kiyimba yazirimu wamu ne Muteesa atwala Mawogola.
Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja