Bya Gerald Mulindwa
Mmengo
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga, asabye ebika eby’enjawulo okwekwata tekinologiya abiyambe okwekumakuma wamu n’okwekulakulanya.
Okwogera bino Kamalabyonna abadde mu Bulange nga bamwanjulira Omutaka w’ekika ky’Engeye omuggya Kasujja Kakande Sheba Viii.
Katikkiro Mayiga yategeezezza nti,“Ebika ebinaakulaakulana byebyo ebinettanira tekinologiya n’empuliziganya eby’omulembe guno Omutebi. Nsuubira nti Omutaka Kasujja ku myaka gyaliko ebya tekinologiya abitegeera bulungi.”
Yalaze obukulu bw’okunyweza obukulembeze mu Bika nategeeza nti, Omutaka omuggya Kasujja Kakande agyidde kiseera kituufu okusikira Omutaka Kasujja Muhamood Kibirige Minge.
Wano weyasinzidde nasaba Kasujja omuggya okutambulira awamu ne bazzukulu be kiyambe okuteekawo enkulakulana enayamba okuyimirizaawo emirimu gy’ Ekika n’okutumbula embeera z’abazzukulu.
Mayiga yabasabye okutuula batondawo Puloojekiti ez’enjawulo era bafube okulaba nga bawuliziganya mu nkola ey’omutimbagano kibayambe okutwala ekika mu maaso.
Mayiga yalaze nga bwebali mukutya olw’oluzzi ab’Engeye lwebavunaanyizibwako olusuliridde okusaanawo mu Ndeeba olw’enkayana z’ettaka.
Yasabye Kasujja omuggya abegatteko balutaase kubanga yamaze okuwandiikira ekkanisa okulaba engeri gyetaasa ettaka n’Obwakabaka busobole okutaasa oluzzi luno Kanywabalangira.
Ate yye Minisita w’eby’obuwangwa, olulimi n’ebyobulamuzi Oweek. Kyewalabye Male yanyonyodde nti, okusinziira ku nnono tewali mukulu wa kika ayinza kutuula ku bukulu buno tayanjuddwa eri Katikkiro.
Kyewalabye yagambye nti kino bwekiggwa ne Kamalabyonna akola enteekateeka namwanjulira Ssaabasajja Kabaka olwo nafuuka omukulu w’ekika omujjuvu.
Minisita Kyewalabye yalabudde ku batondawo amasiga mu bika eby’enjawulo mu Buganda nabasaba okugoberera emitendera n’ennono egirambika ensonga eno kimalewo enkaayana eziyinza okutuukawo mu maaso.
Oweek. Kyewalabye yasabye w’Ekika ky’Engeye Katuluba Ssebunya Bbuno, okwanjulira Kamalabyonna omukulu w’ekika omuggya.
Katuluba Ssebunya yategeezezza nga bwebakola ennyo okulaba nga babudabuda ekika kyabwe nasaba Mukuumaddamula akkirize amwanjulire Ssaabasajja Kabaka.
Omutaka Omuggya Kasujja Kakandde Sheba Viii mukwogera kwe,
Yasabye Kamalabyonna okumulambika era nawera okubeera ow’emizzi eri Kabaka akaseera konna.
Omutaka Kasujja yazze mubigere bya Kasujja Kyesimba VII.