Bya Gerald Mulindwa
Masaka
Omulangira Kitayimbwa Mumiransanafu afudde, oluvanyuma lw’okumala akaseera nga atawaanyizibwa obulwadde bw’omutima
Kitayimbwa afiridde muddwaliro lya Byansi e Masaka gyabadde yatwaliddwa okujjanjabibwa ku lunaku lwa Mmande.
Ono yabadde kitaawe w’omubaka wa Mawogola South mu Palamenti Joseph Ssekabiito.

Mu mwaka oguwedde Beene yasiima nagulira Omulangira emmotoka ey’ekika kya Noah Voxy emuyambeko okumutambuza nga emutwala mu ddwaliro asobole okujjanjabibwa era nga yamukwasibwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Emmotoka eno yali yakusiima obuvumu Kitayimbwa bweyakozesa okukuuma n’okutolosa Ssekabaka Edward Muteesa mu 1966 oluvanyuma lwa Milton Obote okulumba olubiri lwe Mmengo.
Obote weyalumbira olubiri, Omulangira Kitayimbwa ye yali omwami w’essaza lye Mawogola era nga ye yakola enteekateeka z’okulaba nga Ssekabaka Muteesa atuuka e Burundi, gyeyava nagenda e Bungereza.
Omulangira Kitayimbwa y’ani?
Sebastian Kitayimbwa Mumiransanafu Ssaalongo yazaalibwa mu 1935 afiiridde ku myaka 85.
Asibuka mu luse lw’abalangira b’e Kkooki abavaamu Kaamuswaga.
Mu 1954 Obwakabaka bwa Buganda bwamuwa omulimu nga omubazi w’ebitabo mu ggombolola ya Ssaabagabo Makindye era omutaputa wa kkooti.
Ssekabaka Muteesa bw’akomawo mu 1955, n’alonda Mumiransanafu nga omubazi w’ebitabo mu minisitule ya y’ebyamateeka.
Mu 1960 y’amulonda ku buweereza mu ssaza ly’e Buyaga kati eryabula.
Mu 1960, Ssekabaka Muteesa yasiima n’alonda Mumiransanafu okuba Muteesa, ow’essaza Mawogola.
Mu 1966 nga Obote alumbye Obuganda, Mumiransanafu yakweka Ssekabaka Muteesa e Mawogola okumala ennaku 21, era n’ayamba okumutolosa okumuyingiza Burundi, gye yava okugenda e Bungereza.
Mumiransanafu yalimba omukadde Nzereena Nabakooza nti yali aleese muganda we Kaamuswaga wa Kkooki okumumukwekera, nga Nabakooza yategeera luvannyuma nti yali akwese Kabaka.
Omulangira Mumiransanafu n’omumbejja Geera Mosha baali bakuza ba Kaamuswaga Apollo Ssansa Kabumbuli era abaamulunngamyanga bulijjo okunywerera wansi wa Ssaabasajja Kabaka.








