Bya Ssemakula John
Kampala
Abakozi mukaaga (6) mukitongole ki National Roads Authority (UNRA) basangiddwa n’ekirwadde ki ssennyiga Corona ku Mmande.
Ku bano bataano bakolera ku kitebe ky’ekitongole e Nakawa ate nga omu akola ku ttabi lye Masindi.
Bano bazuuliddwa oluvanyuma lw’abakulu mu kitongole okusalawo okukebera abakozi baakyo bonna wakati wa August 19 ne 20 era nga abakeberwa bawera 494 nga ku bano ebyavudde mukukebera bya bantu 222 byebikyakomyewo.
Ekitongole kino kyegasse ku lukalala lw’ebitongole bya gavumenti wamu ne kkampuni z’obwanannyini ezisangiddwa n’abalwadde.
ku bino kuliko wofiisi ya Ssaabaminisita, KCCA, Toyota, Palamenti, Vision Group n’endala.
Okusinziira ku bakungu ba UNRA bakolaganira wamu ne Minisitule y’ebyobulamu okulaba nga batangira ekirwadde kino okwongera okusaasaana mu ggwanga.
“Tusaba abantu bonna okwongera okukuuma obuyonjo nga bwebalambikibwa Minisitule y’ebyobulamu, okwambala obukookolo, okwewa amabanga,” Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa bwekyalambise.
Kino webigidde nga Minisita wa Kampala Betty Amongi, yakamala okulabula nga bwebayinza okuzza Kampala ku muggalo olwa bannayuganda okujeemera ebiragiro bya COVID-19.